MINISITA w’ebyokwerinda, Kiryowa Kiwanuka asoomozezza bannayuganda okufaayo okuyamba abaana abatalina mwasirizi kibayambe nabo okukula nga b'amugaso eri eggwanga ssaako okutangaaza ebiseera byabwe eby’omumaaso.
Bino yabyogeredde ku kifo ekirabirira abaana e Masuliita mu Wakiso ekya Uganda Women’ Effort to Save Orphans (UWESO) kkampuni ya bannamateeka eya K&K advocates bweyabadde ejaguza emyaka 25 ng’ewereza bannayuganda mu kisaawe kya bannamateeka.
Minisita Kiwanuka yagambye nti bayibuli ekyogera bulungi mu kitabo kya Zzabbuli 127 era buli ayamba omwana aba alina ettofaali ddene lyatadde ku ggwanga kuba abaana birabo ebiva eri Katonda.

Kiryowa Kiwanuka, Karugire n'abakungu ba UWESO nga basala cake n
“Twasazeewo okujaguza emyaka 25 n’abaana ku UWESO nga tujaguliza wamu ne maama Janet Museveni eyafuna okworesebwa emyaka 40 natandikawo ekifo kino okulaba ng’abaana enfuzi, abasuliddwawo ssaako nabo abatalina mwasirizi nga bafuulibwa ab’omugaso mu ggwanga” Kiryowa bweyayongeddeko.
Minisita Kiwanuka era yategezezza nti omulamwa gwabwe sikukola kunsonga z’amateeka zokka wabula bafaayo nnyo okulaba nga bayamba abanatu abalina obwetaavu okusingira ddala mubyalo wansi eyo.
Edrine Karugire yategeezezza nti nga bajaguza emyaka 25, ng’oggyeko amateeka, babadde batunuulira nnyo okubuulirira, okulungamya, ssaako n’okuyamba wamu n’okubangula bannamateeka kubutya bwebalina okweyisaamu.
Karugire yagambye nti baasazeewo obutakolera bijaguzo mu woteeri gaggadde, wabula baatuula ne balaba bayinza kujaguza batya ekkula lino, era kwekuvaayo ne kirowoozo okujaguza n’abaana ku UWESO ate babeeko n’obuyambi bwebakola ng’ekijjukizo.
“UWESO ekoze omulimu gw’amaanyi nnyo okulaba ng’ekuuma abaana ssaako okubatangira okukukusibwa ssaako n'abo ababajja mu maka gaabwe nga babasuubiza okubasomesa kyokka nebakommekereza nga babatadde ku makubo kusabiriza.” Karugire bweyayongeddeko.
Karugire yayongeddeko nti abamu ku baana ababa badduka oba okuggyibwa ewaka, babakunganya ne bababulirira era nga bangi bebakozeemu omulimu nebaddayo ewaka nga kati nabamu babuvunanyizibwa mubitundu gye bazaalibwa.

Effumbiro aba KK Company advocate lyebazimbidde aba UWESO
K&K ng’ejaguza emyaka 25, yakoledde aba UWESO effumbiro ggaggadde nga lya byoto 3 ng’ekimu ku nkola ey’okukendeeza okusasanye ssente ennyingi ku nku ezikosebwa mukufumba.
Karugire yagambye nti babadde bagula mmotoka z’enku ennene 2 ku 3 buli wiiki ekibadde kibakosa munsawo kuba babadde basasanya obukadde 120 buli mwaka kunku ate nga n’omukka oguzivaamu nti gwabulabe eri abafumba.
Olive Lumonya nga ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa UWESO, yebazizza nnyo kkampuni ya K&K olw’okubaddukirira n’effumbiro ery’omulembe, lye yagambye nti ligenda kukendeeza kubudde bwebabadde bamala nga bafumbira abaana.
Lumonya yategezezza nti balina abaana 400 mu UWESO nga bajjibwa kunguudo era bagezezaako okubabangula nebafuuka abantu ab’omugaso ng’omwaka guno abaana 360 babazizaayo mumaka gaabwe nga 80% bava mubitundu bye Karamoja.
“Tutaddewo pulojekiti ez’enjawulo ku UWESO okuli okulunda ente, embizzi, okulima kasooli, emmwanyi, ekyuma ekikuba akawunga, okuyigiriza abaana okutunga engoye, nebirara nga bino biyambye abaana bangi okudda mubitundu gye bava nga babuvunanyizibwa.” Lumonya bweyayongeddeko.