OMUVUBUKA agambibwa okufumita kitaawe omuto eccupa enjatifu mu bulago n'amutta, poliisi eteekateeka kumutwala mu ddwaaliro eri abakugu ,okusooka okumwekebejja.
Ettemu lino, lyabadde ku kyalo Kabowa Banda mu Ggombolola y'e Mmende mu disitulikiti y'e Wakiso, omuvubuka David Muwangizi 24 gy'agambibwa okutta kitaawe omuto Meddy Kisambira bwe baafunye obutakaanya.

Poliisi ng'ekimye Omulambo gwa Taata eyafumitiddwa eccupa
Muwanguzi yagezezzaako okudduka oluvannyuma lw'ettemu, kyokka abatuuze abaabadde abanyivu ne bamuyigga ne bamukwata era ne bamukwasa poliisi n'emuggalira ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso era ng'abakugu basuubira okumwekebejja asimbibwe mu kkooti avunaanibwe omusango gw'okutta.