MINISITULE y'Ebyobulambuzi ewadde bannabizinensi abali mu by'obulambuzi amagezi okwettanira okukozesa ennyo tekinologiya naddala enkola ya AI mu nzirukanya y'emirimu gyabwe.
Bino byayogeddwa omukungu okuva mu Minisitule y'Ebyobulambuzi, Geoffrey Sseremba nga asinziira mu lukung'aana olwayindidde mu kibangirizi kya tekinologiya e Nakawa nga lwagendereddwaamu okukubaganya ebirowoozo okulaba bwe basobola okweyambisa tekinologiya wa AI okutumbula ebyobulambuzi bya Uganda.

Aba Minisitule y'ebyatekinologiya beeyamye nti baakukola ekisoboka okulaba nga buli kitundu okwetoloola Uganda yonna babeera ne yintaneeti n'emirongooti gya 'network' ennungi okusobozesa abalambuzi n'abakwasaganya abalambuzi wamu ne Bannayuganda bonna okutwaliza awamu obutava ku mpewo ya yintaneeti.
Kitunzi wa Uganda Tourism Board, Arthur Lwamafa yagambye nti tewakyali kuwannaanya kwonna ye tekinologiya wa AI yamala dda okuwamba ensi yonna n'olwekyo kiri eri abavunaanyizibwa ku bya tekinologiya by'eggwanga okufuba okulaba nga buli kikwata ku ggwanga ku byekuusa ku by'obulambuzi kiwanikibwa ku mitimbagano nti buli oyo yenna aba yeetaaze okukimanyaako buli lw'akebera ku yintaneeti akisangako .
Bino webijjide nga Uganda yeetegekera okwegatta kunsi yonna okukuza olunaku ow'Ebyobulambuzi nga luno lwakubeerawo ku Ssande eno nga 27 September.

Abamu kubali mu mirimu gw'ebyobulambuzi abeetabye mulukungana luno