Amawulire

Yeekumyeko omuliro n’afa n’abapangisa be

LANDIROODI aludde ng’atawaanyizibwa looni za bbanka yeekyaye ne yeggalira mu nnyumba ne yeekumako omuliro ogumusse n’abapangisa babiri.

Poliisi ng’etwala emirambo gy’abaafiiridde mu muliro e Nansana.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LANDIROODI aludde ng’atawaanyizibwa looni za bbanka yeekyaye ne yeggalira mu nnyumba ne yeekumako omuliro ogumusse n’abapangisa babiri.
Bino byabadde mu Nansana West IA mu munisipaali y’e Nansana, Violet Nannyombi bwe yeggalidde n’amafuta ga peetulooli ne yeekumako omuliro enju n’ebengeya gye byaggweeredde ng’afudde n’abapangisa babiri ababadde basula mu kisenge ekiriraanye ekikye.

Enjega eno yaguddewo mu kiro ekyakeesezza Mmande nga kigambibwa nti Nanyombi yasoose kukwasa muwala we ow’emyaka 9 ekiraamo kye n’amufulumya ennyumba.
Abapangisa abaafudde ye Bumali Isabirye omuzimbi ne mukyala we eyategeerekeseeko erya Annet.
Sylvester Isoka, omu ku baliraanwa yategeezezza nti, Nanyombi aludde ng’alina ebimutawaanya era kigambibwa nti abadde yeemulugunya ku kintu ekimukozesa ekiro mu nsonga z’omukwano era abadde teyeewa nnyo bantu. Yagasseekonti abadde yakyuka mu nneeyisa ng’afuna obusungu obwettumbiizi awatali nsonga nga bwekityo kibadde kyongedde okubeeraliikiriza.
Ssentebe w’ekyalo, George Mukiibi yategeezezza nti, Nanyombi yalese ekiwandiiko ekiraga nti abadde atubidde mu mabanja n’entalo z’omwoyo.
Poliisi ng’eduumirwa RPC KMP North, Moses Nanoka, yategeezezza nti, baazudde emirambo esatu omuli ogwa Nanyombi n’abapangisa n’agamba nti, poliisi ekyanoonyereza ezuule oba tewali mulala yafiiriddemu.
OMULIRO GUSAANYIZAAWO BYA BUKADDE E MANYANGWA
Abatuuze n’abasuubuzi ku kyalo Manyangwa mu muluka gw’e Kabubbu, Kasangati Town Council mu disitulikiti y’e Wakiso babunye emiwabo olw’omuliro ogukutte amaduuka n’ekibanda ky’embaawo ku kkubo erigenda ku kkanisa ya All Saints Church Manyangwa.
Ebintu ebyonooneddwa kubaddeko embaawo, ebibajje ebibadde mu bbajjiro lya Sliva, amaduuka agatunda emmere n’agatunda ebintu by’akatale nga byonna bisirikkidde mu muliro.
Abatuuze ababadde bakolera mu kifo awaakutte omuliro okuli omu eyategeerekeseeko erya Mbekeka baategeezezza nti, omuAbantu kye bagamba
Fred Luzindana: Tuli mu kiyongobero eky’amaanyi. Nsaba abalina ebibasoo-
mooza okufuna be boogera nabo babasalire ku magezi okusinga okusalawo okwetta ne batuleka mu nnaku!
Yusuf Nakibinge: Kyannaku nnyo abantu okufa mu ngeri bw’etyo. Nsaba poliisi eyongere enoonyereze tuzuule ekituufu ekyaviiriddeko omukazi ono okutta banne.
Caroline Twegyesire:
Kitwewuunyisizza okuwulira nti landiroodi akumyeko enju omuliro, abantu ne bafa. Omugenzi abadde mukkakkamu nga
tetumusuubira kwetta.
liro gwandiba nga gwavudde ku masannyalaze kubanga gwatandikidde mu kibanda ky’embaawo awaabadde ebyuma ebiranda embaawo.
Ssentebe w’ekyalo Manyangwa James Kateregga, yategeezezza nti, abatuuze bwe baamutegeezezza, naye n’ategeeza poliisi wabula ekimotoka ekizikiza omuliro kyaluddewo okutuuka.

Tags: