Amawulire

Ekkanisa ya Uganda evuddeyo ku mwawule eyalumye Ssentebe wa LC

EKKANISA ya Uganda evuddeyo ku mwawule waayo eyavudde mu mbeera n’akuba owa L.C agakonde n’okumuluma ng’amulanga kugezaako kwogera nga tamuwadde lukusa.

Rev. Ongom ng’ayambalaganye ne Oyoo mu kkanisa. Ku ddyo ye Oyoo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

EKKANISA ya Uganda evuddeyo ku mwawule waayo eyavudde mu mbeera n’akuba owa L.C agakonde n’okumuluma ng’amulanga kugezaako kwogera nga tamuwadde lukusa.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa akola nga omuwandiisi w’Obusaabalabirizi, Balaam Muheebwa kyategeezezza nga bwe baalabye akatambi ku mikutu gya social media omwalabikidde Rev. Canon Richard Ongom, eyawummula wabula n’aweebwa kontulakiti y’okuweereza mu disitulikiti y’e Abim mu Bulabirizi bwa North Karamoja ng’alwana n’owa LC mu kkanisa.

Ng’Ekkanisa, ensonga eno baatandise okugibuulirizaako bazuule ekituufu era bajja kubaako kye bakolawo. Baasabye Abakristaayo okusigala nga bakkakkamu.
Olutalo lwabaluseewo mu kkanisa ya All Saints Church, mu Abim Town Council mu disitulikiti y’e Abim, oluvannyuma lwa Rev. Ongom okugaana ssentebe wa L.C II, Innocent Oyoo okwogera eri abantu.
Rev. Ongom yasabye ssentebe eyabadde ali mu bwangu alinde bamalirize okusaba oba obubaka abulekere abaweereza banaabutuusa eri Abakristaayo oluvannyuma. Oyoo yakiwakanyizza nga bw’atambula okwolekera ekituuti, era abantu baalabidde awo nga Rev. Ongom amupacca oluyi.
Ekyaddiridde kwabadde kukubagana bikonde era muka Reverand n’abagoberezi olutalo baalwetabyemu, okusaba ne kukoma awo!
Oyoo yagambye nti ekituufu yatuuse kikeerezi ng’obudde bw’ebirango buyise, naye ekyamulwisizza, bwe bubaka bwe yafunye okuva ewa komanda wa Detach Barracks bwe yamulagidde atuuse eri Abakristaayo nga bwa byakwerinda. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Mt. Moroto yagambye nti, Rev. Ongom ne Oyoo bombi baaloopye ku poliisi nga buli omu alumiriza munne okumutuusaako obulabe. Kyokka tewali yaakwatiddwa kuba bakyanoonyereza.

Tags: