OMUSAJJA agambibwa okugezaako okufumita effumu abasirikale ba poliisi 2 ababadde bamukwata, bamukubye amasasi agamusse.
Bibadde ku kyalo Gayaza East LC1 e Kyankwanzi, abasirikale nga bakulemberwamu Sgt. Stephen Okongo okuva ku poliisi y'e Gayaza, bwe babadde bagenze okukwata Asuman Barushimana 40 ku musango gw'okutiisatiisa n'okulumya.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamec Kigozi, ategeezezza nti ono afiiridde mu ddwaaliro ly'e Gayaza Health Centre 3 era ng'omusirikale agambibwa okumukuba amasasi, akwatiddwa ng'okubuuliriza kugenda mu maaso