POLIISI ekutte omukazi agambibwa okufumita muliraanwa we ekiso ekyamusse!.
Ettemu lino libadde Busaabala mu munisipaali y’e Makindye Ssaabagabo oluvannyuma lwa mutuuze munnaabwe okufumitibwa ekiso ekimusse.
Afudde ategerekeseeko erya Innocent era nga ku Busaabala abadde amanyikiddwaako nga Innocent Munyarwanda ng’ono yatiddwa ku ssaawa 3:00 ez’okumakya ku Mmande.
Kigambibwa nti omukyala muliraanwa we Lillian Nakazibwe gwe babadde balwanagana naye ye yamufumise ekiso ekyamusse. Abatuuze balumiriza nti obutakkaanya bwabwe buvudde mabega nga bayombagana era bwe balwana nga buli omu alangira munne obulogo nga beesuubiza buli omu okutta munne okukkakkana.
Lydia Nassiwa, muliraanwa waabwe agamba yalabye Lillian ng’afuluma ennyumba n’ayingira aka ggeeti akatono Innocent gy’asula nga bw’ayogerera waggulu ng’ayagala amubuulire ensonga lwaki amuloga.
Agamba nti ne Innocent naye kwe kucankalana ne batandikira awo okwekuba empi n’ebikonde era omukyala ne basooka ne bamwambula n’adduka okuyingira ennyumba ng’eno gye yafulumye ng’akaalakaala n’ekiso mu ngalo nga bw’amugamba nti olutalo lwabwe terunnaggwa.
Wano lwazzeemu buto era baagenze okulaba ng’omukyala asogga Innocent ekiso mu kifuba ekyamunafuyizza kwe kugwa wansi ne bamuyoolayoola ng’amaanyi nga gamuwedde okumuddusa mu ddwaaliro gye yafiiridde.
Ssentebe w’e Busaabala Steven Ntuuyo yavumiridde embiranye eno ebaddewo wakati w’abatuuze be ababiri n’agamba nti eno si y’engeri y’okugonjoolamu obutakkaanya kubanga waliwo akakiiko n’emitendera egy’enjawulo egisobola okugobererwa okumalawo obutakkaanya nga buno.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Racheal Kawala yategeezezza nti poliisi ekutte omuntu omu ng’okunoonyereza ku ttemu lino bwe kugenda mu maaso.