Amawulire

Ebiri emabega w’okulonda abawandiisi b’enkalakkalira

PULEZIDENTI Museveni enkyukakyuka ze yakoze mu bawandiisi b’enkalakkalira yalonze abantu abapya 13 ng’abasinga baasuumusiddwa, yawummuzza 11, waliwo abaakyusiddwa 11 ate abalala 16 n’abaleka mu bifo byabwe.

Ssengonzi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

PULEZIDENTI Museveni enkyukakyuka ze yakoze mu bawandiisi b’enkalakkalira yalonze abantu abapya 13 ng’abasinga baasuumusiddwa, yawummuzza 11, waliwo abaakyusiddwa 11 ate abalala 16 n’abaleka mu bifo byabwe.
Enkyukakyuka Pulezidenti ze yakoze yeeyambisizza ennyingo ya 174(2) eya Ssemateeka ya 1995 emuwa obuyinza okulonda abawandiisi b’enkalakkalira. Akakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti aka Public Service Commission kaalagiddwa okubeekenneenya oba basaanidde.

Dr. Edward Sengonzi Damulira yalondeddwa ku ky’omuwandiisi omukulu owa Palamenti ng’asikira Adolf Mwesige. Damulira yasoma byafuna mw’alina diguli ssatu era y’abadde addirira omuwandiisi w’enkalakkalira (Under Secretary) mu minisitule y’ebyensimbi era nga ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Vision Group. Yakolerako mu ofiisi ya Pulezidenti ne mu minisitule y’ebyobulamu.
Mwesige agenze okuwummula ng’ensonga z’akasiimo ka bakamisona ba Palamenti ak’obukadde 1,700 ze beegabira zaamulekera ebbala olwa kkooti okusalawo nti baazeegabira mu butuufu, wabula ye ne basemba abonerezebwe olw’obutalung’amya Palamenti.
Ebizibu ebirala ebiri mu Palamenti ng’okudiibuuda ssente bifiirizza nnyo eggwanga, era nga mu kiseera kino waliwo n’abakozi ba Palamenti abali ku misango nakyo bakimussaako nti teyatuukiriza buvunaanyizibwa bwe.
Ying. Flavia Guto Bwire, abadde akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku byobuzimbi ekya National Building Review Board, yalondeddwa nga omuwandiisi w’enkalakkalira owa minisitule y’ebyentambula n’enguudo.

Abamu ku bawandiisi ab'enkalakkalira

Abamu ku bawandiisi ab'enkalakkalira


Yasikidde Waiswa Bageya eyawummuzibwa gye buvuddeko nga bamunoonyerezaako olw’okubulankanya ssente z’oluguudo lwa Busega-Mpigi Express. Okunoonyereza okwakolebwa Kaliisoliiso wa Gavumentikwejjeereza Bageya naye ne kutwaliramu abakozi abawerako okuli ne Ying. Isaac Wani, kaminsona akola ku nguudo ennene.
Bageya asangiddwa kontulakita ye yaggwaako era nga yasaba okuwummula era okumuggyawo tekyewuunyisizza. Polof. Stephen Akandwanaho yasikidde Dr. Aminah Zawedde ku ky’omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebya tekinologiya, ebyempuliziganya n’okulung’amya eggwanga.
Zawedde okulondebwa yava ku yunivasite e Makerere gye yali asomesa mu bbanguliro lya tekinologiya. Polof Akandwanaho, yakuguka mu byakompyuta n’ebyempuliziganya nga bwe yali akola diguli eyookusatu, essira yalissa mu kweyambisa enkola ya Artificial Intelligence (AI).
Barbara Namugambe yalondeddwa nga omuwandiisi wa minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi nga yasikidde Pius Wakabi. Namugambe yaliko Under Secretary avunaanyizibwa ku byensimbi mu minisitule y’ebyentambula n’enguudo.
Charles Ssentongo yalondeddwa ku buwandiisi bw’enkalakkalira obwa minisitule y’ensonga z’ebweru ng’asikiraa Amb. Patrick Mugoya. Ssentongo aweerezza mu minisitule y’ensonga z’ebweru okuva mu 1990 ng’aweereza ku bitebe by’amawanga e London, Dar Es Salaam ne Washington.
Mark Sseremba yasindikiddwa mu minisitule y’abakozi ba Gavumenti nga yasikidde Catherine Bitarakwate Musingwiire. Sseremba yavunaanyizibwako ku nsonga z’abakozi mu kitongole ekivunaanyizibwa okunoonyereza ku byobulimi ekya National Agricultural Research Organization era n’akolako obuvunaanyizibwa bwe bumu mu minisitule y’ebyobulimi.
Emmanuel Freddie Mugunga yasindikiddwa mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ng’asikira Alex Kakooza. Aggrey Wunyi yasindikiddwa mu minisitule y’ensonga z’omukago gw’amawanga g’obuvanjuba bwa Africa nga yasikidde Edith Mwanje.
Kenneth Akiri yasindikiddwa mu minisitule y’ebyamazzi n’obutonde bw’ensi ng’adda mu kifo ekibadde Alfred Okot Okidi. Maureen Kasande yasindikiddwa mu ofiisi ya Kaliisoliiso n’asikira Rose N. Kafeero. Edith Butuuro yasindikiddwa mu minisitule y’ebyokwerinda n’ensonga z’abaazirwanako n’asikira Rosette Byengoma. Butuuro yaggyiddwa mu minisitule y’ebyensimbi gy’abadde ‘Under Secretary’.
Sheeba Kyobutungi Rujoki yasindikiddwa mu ofiisi ya Pulezidenti nga y’avunaanyizibwa ku bya ssaayansi, tekinologiya n’obuyiiya. Betty Mutesa Cwinya yaweereddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi ba Gavumenti ekya Public Service Commission nga yasikidde Dr. John Geoffrey Mbabazi.
ABAAWUMMUZIDDWA
l Adolf Mwesige
l Maj. Gen. David Kasura-Kyomukama
l Dr. Rose Nassali Lukwago
l Alex B. Okello
l Dorcus W. Okalany
l Bageya Waiswa
l Edith Nsaja Mwanje
l Alfred O. Okidi
l Dr. John Geoffrey Mbabazi
l Rose N. Kafeero
l Pius Bigirimana
ABAAKYUSIDDWA
l Doreen Silver Katusiime - kitongole ekiramuzi.
l Bagiire Vincent Waiswa - minisitule y’ebyobulambuzi.
l Catherine Birakwate - minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana.
l Benjamin Kumumanya - ka Judicial Service Commission
l Dunstan Balaba - minisitule ya Gavumenti z’ebitundu
l Lynette B. Bagonza - wa mpisa n’obuntubulamu
l Nkeramihigo Julius Victo, minisitule y’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga.
l Alex Kakooza - minisitule y’ebyobusuubuzi, ebyamakolero n’obwegassi.
l Dr. Aminah Zawedde - avunaanyizibwa okukwataganya emirimu gya ofiisi ya Katikkiro wa Uganda
l Aggrey Kibenge - muwandiisi ow’enkalakkalira mu ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti.
l Rosette Byengoma - muwi w’amagezi owa Pulezidenti ku by’okugula ebintu bya minisitule y’ebyokwerinda.
ABAASIGAZZA EBIFO BYABWE
l Lucy Nakyobe - akulira abakozi ba Gavumenti (omuwandiisi wa Kabineeti).
l Dr. Mary T. Wenene - amyuka akulira abakozi ba Gavumenti (amyuka omuwandiisi wa kabineeti).
l Jane Mwesiga Kyarisiima - amyuka akulira abakozi ba Gavumenti n’entambuza y’emirimu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda.
l Jane Barekye - akulira ebyensimbi mu ofiisi ya Pulezidenti.
l Gloria Asio Omaswa - muwandiisi ow’ekyama owa Pulezidenti.
l Yunus Kakande - muwandiisi wa ofiisi wa Pulezidenti
l Ying. Irene P. Bateebe - wa minisitule y’ebyamasannyalaze n’ebyobugagga by’omu ttaka.
l Dr. Diana Atwiine - wa minisitule y’ebyobulamu
l Lt. Gen. Joseph Musanyufu - wa minisitule w’ensonga z’omunda.
l Robert Kasande - minisitule y’ebyamateeka n’ensonga za Ssemateeka.
l Dr. Kedrace T. Rwankore Turyagyenda - minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.
l Dr. Ramathan Ggoobi, wa minisitule y’ebyensimbi.
l Pius Perry Biribonwoha - ofiisi y’omuwabuzi wa Gavumenti ku byamateeka.
l Dr. Asuman Lukwago - akakiiko akagaba emirimu gy’abasomesa ba Gavumenti.
l Ketty Lamaro - akakiiko akavunaanyizibwa ku byobulamu aka Health Service Commission
l Kainza Agnes Nzogi - ofiisi ya Ssaabawaabi ba Gavumenti
Tags: