Amawulire

Omuvubuka eyatta omuwala gwe yakwana n’agaana asindikiddwa mu kkooti enkulu awerennembe n’ogw’obutemu

OMUVUBUKA eyakwana omuwala n’amugaana yamutuga n’amulesa ebbuje lya myaka ebiri. Yasin Nnyanja yatta Sandra Nagawa 22, nga bonna batuuze b'e Busega Nateete mu Lubaga.

Omuvubuka eyatta omuwala gwe yakwana n’agaana asindikiddwa mu kkooti enkulu awerennembe n’ogw’obutemu
By: Peter Ssuuna, Journalist @New Vision

OMUVUBUKA eyakwana omuwala n’amugaana yamutuga n’amulesa ebbuje lya myaka ebiri. Yasin Nnyanja yatta Sandra Nagawa 22, nga bonna batuuze b'e Busega Nateete mu Lubaga.

 

Kigambibwa nti Nnyanja yali aludde ng'aperereza Nagawa amwagale kyokka ne mutavaamu kalungi konna oluvannyuma bw'obutatuuka ku nzikiriziganya olwo n'asala amagezi waakiri amutte aleme kufiirwa byombi.

 

Nnyina w'omugenzi Justine Nakayiza agamba nti mu kiro kya nga May 19, 2026, yatuma muwala we ono okugula eby'okulya ku dduuka naye n'atakomawo naye teyakitwala nga kikulu olw'okuba yali atera okusula ku ssaluuni gy'akolera era yalowooza gy'asuze.

 

Enkeera, kitaawe w'omugenzi Kazungu Lukwago, yagenda okukebera mu kisenge kya Muwala we okulaba oba yakomyewo eby'embi nga taliimu olwo okwewuunaganya ne kutandika.

 

Okubuuliriza bwe kwatandika, waliwo omukazi ayitibwa Jesca Nambooze eyategeeza ffamire eno nti yamulabyeko ne Nyanja ekiro ky'eggulo kyokka mbu Nyanja yakomawo yekka ng'atobye engoye ate nga ziddugala.

 

Nga May 21, 2026, omusajja ku kyalo asala ebisubi, Adam Lukyamu yasiinya ku Lukwago nti alina engatto gy'alabye ku kkubo nga yeefaananyiriza eya Nagawa n'amusaba okutuukawo okulaba oba alina w'asobola okutandikira.

 

Lukwago okugendayo nga ku mulambo gwa muwala we kw'akuba amaaso mu kasiko! Yayita ssentebe naye eyayita Poliisi n'eggyawo omulambo. Gwali kuliko ebiwundu ebiteeberezebwa okuba nga byava ku kintu ekitalina bwogi, gwali gwambuddwa engoye nga ziri waggulu ng'akawale k'omunda kaaseeseetuddwa okutuuka mu maviivi.

 

Poliisi embwa enkonzi y'olusu gye yaleeta yasibira ku Nyanja n'emukunguzza okutuuka mu kazigo gye yali asula. Eno baasangayo akagoye omuwala ke yeesiba mu bulago (, emu ku ngatto n'olumu ku lugoye lwe yabaddemu eggulo limu.

 

Yakwatibwa n'atwalibwa ku Poliisi gye yaggulwako ogw'okutta omuntu oluvannyuma n'asidikibwa mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ku ffayiro 007/2026.

 

Eno gy'abadde, omulamuzi Adams Byarugaba amuwadde empapula ezimusindika mu kkooti enkulu atandike okubitebya oluvannyuma lw'omuwaabi wa Gavumenti Caroline Mpumwire okutuuka ku ntikko y'okunoonyereza mu musango guno.

 

Nnyina w'omugenzi Nakayiza, ategeezezza nti mu wiiki emabega, muwala we yali amutegeezezzaako ku Nyanja amukwana kyokka mbu bwe yamugaana n’atandika okumutiisatiisa okumutta ky'ataamanya nti omuvubuka yali mumalirivu okutuukiriza bye yali ayogera.

 

Ayongeddeko nti Nagawa yamulekera ebbuje  lya myaka ebiri kyokka nga tamubuulidde na kitaawe wa mwana gy'abeera. Yasabye kkooti okumuwa obwenkanya waakiri ekalige omuvubuka ono obulamu bwe bwonna bw'asigazza ku nsi afune obuweerero.

Tags:
Amawulire
Nateete
Kkooti
Nkulu
Musango
Naggomola