Amawulire

Nkubakyeyo asigudde owa Brenda Beauty World amaka gaabwe ne gasasika

NKUBAKYEYO asigudde nnanyini kifo ekiyooyoota ensusu mu Kampala ekya Brenda Beauty World n’atabula amaka.

Brenda Mukisa mu Katono, Jackson Lubega, David Sserwanga , lubega gweyatutte ku Poliisi ng'amulanga okumusigulira omukazi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NKUBAKYEYO asigudde nnanyini kifo ekiyooyoota ensusu mu Kampala ekya Brenda Beauty World n’atabula amaka.
Brenda Mukisa Mugagga, atunda ebizigo ebizigula ensusu z’abakyala, mu kiseera kino ali mu mukwano omuyitirivu ne nkubakyeyo David Sserwanga eyavudde e Canada.

Abadde omwami we Jackson Lubega, asiiba akulukusa maziga olwa mukyala we   okumwabulira n’atandika okubinuka ne Sserwanga. Mu kiseera kino Lubega ali mu kkooti ne Mukisa nga bakaayanira abaana abataano be baazaala nga bali wamu. Abaana bano kuliko omulenzi n’abawala bana.
Lubega era yatutte n’omusiguze Sserwanga ku poliisi e Kabalagala n’amuggulako omusango gw’okumutiisatiisa ku fayiro nnamba SD: REF 46/09/11/2026.

OBULUMI BWA LUBEGA

Lubega gwe twasanze mu makaage agasangibwa e Kabalagala mu divizoni y’e Makindye, wakati mu kukulukusa amaziga, yagambye nti yayagalana ne Mukisa era n’amwanjula mu bakadde be ne babeera mu bufumbo bw’obuwangwa.
Katonda yabawa ezzadde lya baana bataano, era baali batambula bulungi, nga Lubega alina ekirowoozo nti balikaddiwa bombi. Wakati mu mukwano gwe baalina, Lubega yagambye nti baakola ebyobugagga ne mukyala we, kyokka olw’omukwano omungi gwe yalina gy’ali ate nga si muyivu kimala, ebyobugagga bino babiteekanga mu mannya ga Mukisa.
Embeera eno bagimazeemu emyaka 15 miramba, era Lubega agamba nti ebituuseewo mu bufumbo bwe teyalowoozaako nti biribaawo.
EMBEERA ETANDIKA OKUKYUKA
Lubega yannyonnyodde nti mukyala we yatuuka ekiseera n’alinnyisa omutindo, era
n’atandika okumupeeka ebintu ebyebbeeyi, omuli n’okusomeseza baana mu masomero agaamalayo, nga enjogera y’ennaku zino bw’eri. Buli lusoma, Lubega agamba nti yatuuka ekiseera ng’asasula obukadde 10, naye nga ziva mu bugubi obw’amaanyi.
Aba akyali kw’ebyo, kwe kufuna ekirowoozo ye ne mukyala we, bagule poloti ebaliraanye bazimbemu ennyumba ezipangisibwa ez’omulembe (Apartments), era ekyapa ne bakiteeka mu mannya ga Mukisa.
Baatandika okuzimba, kyokka nga ssente balina ntono, era Mukisa n’aleeta ekirowoozo ky’okwewola mu bbanka obukadde 500 bamalirize ennyumba zino, ekintu Lubega ky’agamba nti yakkiriza okukola, era ennyumba ne ziyooyootebwa bulungi.
Lubega ayongerako nti ennyumba zino bwe zaamala okuzimbibwa, mukyala we Mukisa yatandika okukyusa empisa, era n’atandika okumusiriba ensonga z’omu kisenge. Abeera akyasala amagezi ag’okuddamu okufuna akaboozi okuva ewa mukyala we, ate agenda okulaba ng’omukazi anobye.
Nti yanobera mu nnyumba z’abapangisa ze baali baakamala okuzimba. Lubega bwe yeesitula agendeyo alabe ekyatabudde omuntu we, yasangayo Sserwanga nga bali mu mukwano omuzibu, era ne bamulabula obutaddamu kwesembereza nnyumba zino bw’aba ayagala emirembe.
Ebyo olwaggwa, Lubega agamba nti abaana be ababiri abasembayo obuto Mukisa yabamutwalako era yasigazaawo abaana abakulu abasatu abaasalawo okusigala naye ne bagaana okugenda mu bufumbo obupya ne nnyaabwe.
ENSONGA ZIGENDA KU POLIISI
Lubega yannyonnyodde nti ekyamutuusizza okugenda ku Poliisi aggulewo omusango, yafunye okutya, olw’ebigambo omusiguze bye yayogedde, bwe baabadde bakaayanira omwana we owa P.7, nga bamuggya ku ssomero. Lubega yagambye nti baamukubira
essimu okugenda ku ssomero, nga muwala we agaanyi okugenda ne nnyina ne Sserwanga, ng’ayagala Lubega y’aba amutwala. Mu kanyoolagano kano, Lubega agamba nti Sserwanga yakozesa ebigambo ebyamukanga, era n’atandika okutya ng’alaba obulamu bwe, buli mu matigga, kwe kusalawo okwekubira enduulu ku poliisi.
Mukisa bwe twamutuukiridde kulukomo lw’essimu okunnyonnyola ku nsonga zino, yagambye nti bwe tugenda maaso n’emboozi eno, ajja kututwala mu kkooti. Ennyumba
 ’abapangisa ez’ebbeeyi, Lubega z’agamba nti yazizimba ne Mukisa. Jackson Lubega agamba nti ye bba wa Brenda Mukisa Mugagga ng’annyonnyola. David Sserwanga, Lubega gwe yatutte ku poliisi era gw’alumiriza okumusigulira omukazi. Brenda Mukisa Mugagga

Tags: