Amawulire

Akulira Vision Group Don Wanyama akubirizza amasomero okutandikawo clubs za Pass PLE

AKULIRA Vision Group Don Wanyama, atuuuseko ku ssomero lya Kitante P/S ewayindira empaka za PASS PLE Quiz za Bukedde. 

Don Wanyama ng'atuuse e Kitante
By: Patrick Kibirango, Journalist @New Vision

AKULIRA Vision Group Don Wanyama, atuuuseko ku ssomero lya Kitante P/S ewayindira empaka za PASS PLE Quiz za Bukedde.

Nim 1(2)

Nim 1(2)


Wanyama mukwogerako eri abayizi  ategeezezza nti Vision Group ekulembeza ku mwanjo eby’enjigiriza okuyita ku mikutu gyayo egy’enjawulo.
Ono akubiriza amasomero okukola kiraabu za PASS PLE mu masomero gaabwe ne yeeyama nti baakuwagira Club zino.


Wanyama asiimye amasomero agazeetabyemu wamu n’abo abataddemu ensimbi okuli Timnah Schools, Chapa General Enterprises n’eddwaliro lya Gray Homles Hosipital Maganjo.

Don Wanyama ng'atuuka e Kitante ku QUIZ

Don Wanyama ng'atuuka e Kitante ku QUIZ


Ono aliko ekibuuzo ky’abuubuziza abayizi nga kibadde kikwata ku matabi ga gavumenti 3 n’abagakulira era kiwanguddwa omuyizi okuva mu Victor’s Ark Gayaza n’akiwangula era n’amukwasa emitwalo 5.
Tags: