Amawulire

Abagambibwa okubba mmotoka ne bawamba omwana poliisi ebakutte!

Bernard Matovu 20, omutuuze mu Nsumbi e Kyebando mu Wakiso ne Christopher Ssemata 30 , omuvuzi wa bodaboda nga naye wamu Nsumbi , be bakwatiddwa ku nsonga eno.

Abagambibwa okubba mmotoka ne bawamba omwana poliisi ebakutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu babiri abagambibwa okubba emmotoka ne bawamba n'omwana ow'emyaka 10 ne basaba obukadde 20 poliisi ebakutte n'omwana ne bamununula.

Bernard Matovu 20, omutuuze mu Nsumbi e Kyebando mu Wakiso ne Christopher Ssemata 30 , omuvuzi wa bodaboda nga naye wamu Nsumbi , be bakwatiddwa ku nsonga eno.

Matovu ne munne Ssemata abaakwatiddwa.

Matovu ne munne Ssemata abaakwatiddwa.

Kigambibwa nti omwana ono baamuwamba nga October 4 e Ssenge Wakiso.

Kitegeezeddwa nti Matovu , baamuyita okwoza emmotoka Impreza nnamba UA 229 AR mu Nansana East 2 A nti bwe yamala okujooza, n'abulawo nayo n'aggyako essimu n'agenda e Ssenge gye yawamba omwana.

Kigambibwa nti omwana yamutwala mu Nsumbi e Kyebando n'asaba obukadde 20 okumubaddiza n'abawa ne akaawunti nnamba mu bbanka okussaako ssente.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti Matovu oluvannyuma baamukutte n'emmotoka wamu n'omwana ne bamununula.

 Akuumirwa ku poliisi e Nansana ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Kuwamba
Mmotoka
Mwana
Poliisi
Kubba
Kugambibwa
Matovu
Ssenge
Wakiso
Nansana