BAKANYAMA ba KCCA babiri abagambibwa okukabassanya omuwala wa yunivaasite eyalemererwa okukima ebidomola by’amazzi 50 ng’akwatiddwa olw’okulinnya mu busubi babagguddeko gwa buliisa maanyi!

Osena agambibwa Okukabassanya Omuwala.
Osena Kigambibwa nti ye yakwata omuwala ono bino nga byaliwo nga September 22, 2026 ku kisulo ekiyitibwa ABC 2 ekisangibwa mu Kampala mu bumenyi bw’amateeka yakabassanya omuwala nga tafunye lukusa kuva gy’ali.
Ate ye Mukisa kigambibwa nti nga September 23 ne 27,2026 yakozesa ekyuma ki kalimagezi ng’ayita ku mukutu gwa Whatsapp n’asaba omuwala y’omu oyo basisinkane era ng’amuweerezza obutambi bwe yamukwata.

Mukisa agambibwa okukozesa Omutimbagano Okutiisatiisa Omuwala y'omu.kozesa Naye (1)
Bino byonna okutuukawo kigambibwa nti omuwala ono gwe gwali omulundi gwe ogusoose okujja e Kampala ebyembi yalinnya mu bimuli ebyasimbibwa ku nguudo era abasajja babiri bajja ne bamutegeeza nga bwe yali azzizza omusango ng’ekibonerezo kyali kyakuwa ngassi ya mitwalo 10 oba okugula ebidomola by'amazzi 50.
Yabategeeza nga bwe yali omuyizi era nga bw’atalina ssente, bano baamugamba agende nabo ku yafeesi zaabwe wabula ke yali omupya mu Kampala okusooka teyamanya gye baali bamutwala era okukkakkana nga bamuyingizizza mu nnyumba eyalimu enzikiza.
Omu yasigala wabweru ng’akuuma omulala n’asigalamu n’amutuusaako ogw’obuliisa maanyi wabula yasobola okumwetaawuluzaako.
Oluvannyuma lw’ennaku nga ziyise Mukisa yatandika okumuweereza ebifaananyi ng’ali bwereere n’atandika okumutiisatiisa nti ssinga takkiriza kumwagala agenda kukwata ebifaananyi abiteeke ku tiktok.
Mukisa omusango yagwegaanyi ate ye Osena omulamuzi yamutegeezezza nga bw’atakkirizibwa kubeerako ky’addamu kuba ogwo omusango guwulirwa mulamuzi atwala kkooti eyo ate nga taliiwo.
Basindikiddwa ku alimanda e Luzira okutuusa nga October 19 lwe banaddizibwa mu kkooti okumanya okunoonyereza ku misango gino we kunaaba kutuuse.