Amawulire

Katikkiro Mayiga akubirizza ku buyonjo

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okuteeka amaanyi mu buyonjo nga kino kya kwongera okuliNnyisa omutindo gw'ebyobulamu.

Katikkiro Mayiga ng'ayogera
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okuteeka amaanyi mu buyonjo nga kino kya kwongera okuliNnyisa omutindo gw'ebyobulamu.

Mayiga agamba nti obujama obuli mu bitundu byenyamizza nga  bwetaaga okulwanyisibwa kubanga buswaza bwogerageranya nti Buganda yamanya dda ekintu ky'okweyonja emyaka 600 emabega ku mulembe gwa Ssekabaka Tembo.

Katikkiro Mayiga ng'ayoola Kasasiro mu katale k'e Mengo mu Kampala

Katikkiro Mayiga ng'ayoola Kasasiro mu katale k'e Mengo mu Kampala

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde atongoza wiiki ya Bulungibwansi mu Buganda ng'omukolo gubadde mu katale ka Kabaka ak'e Namirembe bangi kebayita ak'e Mengo.

"Omuntu bwabeera omuyonjo abeera awulira bulungi naye mulaba oli nga si muyonjo abeera tayala. N'olwekyo musaanye okunyikirira obuyonjo, musitule omutindo gw'obuyonjo;- buli lwofuna akadde naaba mu ngalo, yonja omubiri," Mayiga bwayogedde.

Katikkiro Mayiga era asinzidde wano n'asaba ebifo awakunganira abantu mu lukale okuli, obutale, Ppaaka, amadduka, amasinzizzo, okubeerako ebipipa awateekebwa kasasiro mu biti eby'enjawulo kyanguye omulimu gw'okumuyoola n'okumuggyamu emigaso eby'enjawulo.

Katikkiro Mayiga ng'alambula ebintu ebitundibwa abakyala mu katale kano.

Katikkiro Mayiga ng'alambula ebintu ebitundibwa abakyala mu katale kano.

Minisita wa Bulungibwansi, n'obutondebwensi bwensi mu Buganda, Hajjat Mariam Mayanja asinzidde wano n'agamba nti entikko yaayo nga yakubeerawo ku lwa October 08,2026, Buganda bwenabeera ejjaguza amatikkira saako n'olunaku lwa gavumenti ez'ebitundu ne Bulungibwansi 2026 ku mbuga y'eggombolola  ye Gombe mu ssaza Kyadondo.

Isaac Mpanga akikkiridde   akulira olukiiko olukulira kkampuni ya Kabaka Rexba evunanyizibwa ku butale bwa Kabaka, agambye nti bakyalina okusomoozebwa kw'ettaka ly'akatale kano ng'ekyapa kikyali mu KCCA naye nga balwana okukiggyayo, bazimbe akatale kano okudda ku mulembe.

Katikkiro Mayiga mu katale k'e Mengo

Katikkiro Mayiga mu katale k'e Mengo

Abakulembeze ab'enjawulo mu kitundu kino okubadde omwami w'eggombolola ye Lubaga, Samuel Bakanoga n'Omumyuka we Paul Lutalo n'abalalaboogedde ku nteekateeka ya Bulungibwansi eno  n'okwebaza obwakabaka okubakunga okwetanira enteekateeka eno.

Omukolo gwetabiddwako  Baminisita okuli Joseph Kawuki owa gavumenti, Isreal Kazibwe ow'amawulire, Omukungu  Robert Ssewava akulira Olubiri lwe Mmengo era akulira emirimu mu Rexba, Omumyuka owookubiri owa Kaggo Dr. Fiona Faridah Nakalinda Kalinda n'abalala bangi

Tags: