ABANTU 3 bafudde n'abalala babiri ne balumizibwa mu kabenje akagudde e Kabwohe Sheema.

Emu ku mmotoka ze baagoyezza.

Emu ku mmotoka Sienta eyakoseddwa.
Omu ku basatu abafudde, ye dedreeva w'emmotoka eno era ng'emmotoka ezitomeddwa, kuliko UAV 834R Raum, UA 538EG Sienta , Wish nnamba UBN 195 Y, Range Rover nnamba UAP 900L , AU 601DG Seinta, UAZ 141 M Premio ne ppiki UFA 859M.
Omwogezi wa poliisi y'ebidduka Micheal Kananura, agamba nti abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaliro lya Kabwohe Health centre IV okufuna obujjanjabi