Omulamuzi wa Kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu akalize abasajja abatta omusuubuzi w'e Masaka.
Alex Makandya eyakuba omugenzi embazzi ku mutwe akaligiddwa emyaka 50 nga omulamuzi ategeezezza nti Ono ebbanga ly'amaze ng'awerennemba n'omusango talazeeko kwenenya kwonna olw'ekikolwa kyeyakola wabula nga abadde akola gwa kwegaana so nga banne babadde bamulumirizza nti yenyini yeyakuba omugenzi embazi ku eyamuviirako okufa.
Samuel Twinomuguni amanyiddwa nga Mukiga ye omulamuzi amukalize emyaka 35 nga yeyakola nga dereva era nga Omulamuzi ategeezezza nti Ono okuweebwa ekibonerezo kino kiddiridde okubeera omukamamu eri kkooti n'abenganda z'omugenzi ate nga mweteefuteefu okuwa obujulizi bwonna obuluma mwanyina w'omugenzi Ali Ssemanda ne mukyalawe Zaharah Nsubuga nabo abakwatibwa ku bigambibwa nti bebaali emabega w'ettemu eryakolebwa ku mugenzi olw'enkayana z'ekibanja zebalina.