🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte akayumba k'embaawo mwe babadde beebase ku mwalo!

ABAANA babiri abawala ab'emyezi esatu, bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba ey'embaawo mwe babadde babeebasizza.

Abaana 2 bafiiridde mu muliro ogukutte akayumba k'embaawo mwe babadde beebase ku mwalo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAANA babiri abawala ab'emyezi esatu, bafiiridde mu muliro ogukutte ennyumba ey'embaawo mwe babadde babeebasizza.

Bibadde ku mwalo gw'e Kitosi mu muluka gw'e Lwomolo mu ggombolola y'e Kkoome e Mukono, omuliro bwe gusse abaana bano, be babadde basibidde mu nnyumba ng'abazadde tebaliimu.

Omuliro era , gusaanyizzaawo ennyumba endala 12 n'ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw'ensimbi, ne bitokomoka.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, agambye nti bakyanoonyereza okuzuula ekivuddeko omuliro era n'akubiriza abantu okubeera abeegendereza ennyo , okusobola okwewala omuliro.

Tags:
Muliro
Baana
Kufa
Amawulire