KOOCI Sam Ssimbwa, ategeezezza nti, ssentebe wa zone awaabadde ensiitaano n’omupanyisa we, amuwaayirizza bingi okumwonoona omuli n’okumusibako okuganza omupangisa gwe yabadde alwana naye.
Omulangira Ssimbwa eyazzeemu okwogera ne Bukedde eggulo, yabadde awakanya ekya ssentebe wa Kazo zone II e Kawempe, eyagambye nti, okulwanagana n’omupangisa we eyabadde adduka nga tamusasudde, byabaddemu eby’omukwano.
Yaloopye ssentebe wa Kazo, Nathan Kiyimba Bogere eyakazibwako erya Pakacha ku poliisi e Kawempe, nga kigambibwa nti yamukubye nga yeekobaanye n’ekibiina ky’abavubuka abaabadde bawolereza omupangisa eyabadde asenguka nga tasasudde.
Bogere naye yaggudde ku Ssimbwa ogw’okumukuba ng’agamba nti, yeekobaanye n’ekibinja ky’abantu ne bamutusaako obulabe.
Oluvannyuma Bogere yategeezezza Bukedde nti, ekyatabudde Landirodi (Ssimbwa) n’omukyala abadde apangisa ku nnyumba ze, byabaddemu eby’omukwano.
Ono eyasoose okutegeeza Bukedde nti, Ssimbwa baamusasula emyezi esatu wabula omukyala oyo n’aloopa ewa ssentebe nti Ssimbwa okumutunuza mu nsonga z’omukwano, yasalawo asenguke ku nnyumba, n’asaba bamuddize ssente z’emyezi ebiri egyali gisigaddeyo.
Bogere agamba nti, baatuula mu nsonga ne zibalemerera omukyala oyo n’asalawo amaleyo emyezi gye asenguke.
Wabula yayisizzaako ennaku ssatu, yabadde asenguka Ssimbwa gye yavudde n’amulemesa nti, asooke asasule ssente ez’ennaku essatu z’abadde asuliddemu ng’emyezi gye giweddeko.
SSIMBWA ADDIZZA SSENTEBE OMULIRO
Ng’ayogera ne Bukedde eggulo, Ssimbwa eyasoose okutegeeza ssentebe Bogere bw’ayagala okumwonoona obwonoonyi ng’amusibako by’atamanyi, yabuuzizza nti;
Ssente ez’ennaku essatu ezigambibwa nti ze nabadde mmanja omupangisa oyo, zaabadde za loogi ze bapangisa akaseera akatono, oba?
Yagambye nti, ye (Ssimbwa) si mulalu nti, bw’aba nga amukwana n’agaana, olwo amugobe. Nti tamukwanangako, takwanakwana, takwana na bawala bato ng’oyo.
Yagambye nti talina na nnamba ya ssimu ya muwala ayogerwako, tamanyi na mannya ge kubanga byonna biri mu bitabo by’abapangisa be tatambula nabyo, ne yeebuuza bw’akwana omuntu gw’atajjukira mannya.
Simbwa yasambazze ne Bogere bye yagambye nti, ku nnyumbaze takkirizaako bafumbo, ayagalako bawuulu bokka ate nga bakazi.
Agamba nti ne bw’ogenda ku nnyumba ze, kuliko abafumbo abakyala n’abaami.
Agamba nti ekituufu, alabika yatabukamu ne bba nga tebaayagala awo we baali bapangisizza, era omukyala oyo yamusaba amuddize ssente ze ez’emyezi ebiri egyali gibulayo asenguke wabula ye Ssimbwa n’agaana.
Bwe gyaweddeeko n’asalawo agende kyokka ebbanga lye bakkaanya, lyali lyasukkamu era yabadde amubanja ate nga si za nnaku ssatu zokka nga Bogere bw’agamba.
Mu kadde we twayogeredde, yategeezezza nti yabadde azzeeyo ku poliisi amalirize eby’okukwata Bogere kubanga yabadde teyeewulira bulungi nga n’ebiwundu abirina ku mutwe