POLIISI e Iganga eyigga ababbi ab'emmundu , abaafumbiikirizza abakozi ba BIDCO ne babanyagako obukadde 30 ze baabadde batunze ku by'amaguzi mu mmotoka.

Mmotoka baagirese ku kkubo
Abasajja basatu nga balina emmundu nga batambulira mu mmotoka ekika kya Toyota Wish, bafumbiikirizza abakozi bano aba kkampuni ya BIDCO ab'ettabi ly’e Iganga ababadde bagenda batambuza eby'amaguzi mu mmotoka nnamba UAU 090H Isuzu Box body ne babawamba.
Babiri ku bano kigambibwa nti baabadde bambadde ebyambalo ebyefaananyiriza eby'ekijaasi ate ng'omu ayambadde nga ab’ekitongole ekiwooza omusolo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, agambye nti baabaggye mu mmotoka ne bagireka mu luguudo wakati ne babavuga mu Wish ne babasuula e Nawangisa e Busembatya mu disitulikiti y'e Bugweri nga bamaze okubanyagako obukadde 30