ABAVUBUKA abakunukkiriza mu 100 abagambibwa okubbira ku luguudo lwa Nothern by pass mu jjaamu naddala okuva e Busega okutuuka e Bweyogerere, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.
Bazudde enjaga, ebintu ebigambibwa okuba ebibbe, omuli amasimu n'ebirala. Kigambibwa obunyazi businze kubeera Kyengera, okumpi n'enkulungo ya Busega, naddala akawungeezi n'ekiro mu jjaamu .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti okusunsulamu, kugenda mu maaso.