🇺🇬 Tukwagaliza Olunaku olw'Ameefuga ag'e 64 olulungi 🇺🇬
  *   🇺🇬✨ Okujaguza eddembe lyaffe, obusika bwaffe, obumu, okwesiimisa n'omwoyo gwa Uganda. Tiimu ya Bukedde ekwagaliza Olunaku olw'ameefuga olw'omulundi ogwa 64!🎉🇺🇬   *  
Amawulire

Poliisi eyodde 100 abagambibwa okubbira ku luguudo lwa Northern Bypass

ABAVUBUKA abakunukkiriza mu 100 abagambibwa okubbira ku luguudo lwa Nothern by pass mu jjaamu naddala okuva e Busega okutuuka e Bweyogerere, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Poliisi eyodde 100 abagambibwa okubbira ku luguudo lwa Northern Bypass
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABAVUBUKA abakunukkiriza mu 100 abagambibwa okubbira ku luguudo lwa Nothern by pass mu jjaamu naddala okuva e Busega okutuuka e Bweyogerere, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Kikoleddwa mu Busega Fish Market , mu bifo mwe balagira firimu, mu kitoogo awali ettaawo ku Mityana Rd ng'odda e Bulenga, zzooni ya Kigwanya, n'awalala, okukkakkana nga bayodde 93 nga bana ku bano, bakyala.

Bazudde enjaga, ebintu ebigambibwa okuba ebibbe, omuli amasimu n'ebirala. Kigambibwa obunyazi businze kubeera Kyengera, okumpi n'enkulungo ya Busega, naddala akawungeezi n'ekiro mu jjaamu .

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti okusunsulamu, kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kubba
Kigambibwa