Poliisi ekyagenda mu maaso n'okuyigga abatemu abasse abantu basatu e Kyegegwa.
Emirambo, gizuuliddwa muliraanwa abadde akyaddeko mu maka era yatemezza ku poliisi y'e Kyaka 2 .
Baatutte embwa ebatuusizza mu lukuubo ku kyalo Ndolobwire gye baasanze engoye z'omu ku bagenzi era n'ebatuusa ewa Tonesiti Bageza engoye endala gye baazisanze.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori West , Vicent Twesige, agambye nti baliko abantu basatu abaakwatiddwa, bayambeko mu kunoonyereza.