EYAKULIRAMU eby’okulonda mu Kampala Rashid Hasakya bamukunyizza ku byava mu kulonda omubaka wa Kawempe South n’ategeeza nti obutakwatagana mu DR foomu ne byalangirirwa birabika bya kolebwa bakozi b’akakiiko nga baali bakooye.
Haskya abadde maaso g’omulamuzi Faridah Bukirwa bannamateeka ba Fred Nyanzi Ssentamu nga bakulemberwa Alex Luganda ne bamuteeka ku nninga annyonnyole lwaki ebyava mu bifo 71 awalonderwa tebyagattibwa ku bululu bwonna ng’ate baabifuna.

Fred Nyanzi ng'ali ne Looya Alex Luganda
Hasakya abulidde kkooti nti ebyava mu bululu ku DR foomu bibeera birina okukwatagaana ne kuwandiiko ekya “tally sheet” kyokka byonna obwedda bye bamubuuza nga tekuli bifaanagana.
Kyokka Luganda amugambye awalonderwa teyaliiyo wabula ebyava mu kulonda mu bitundu bikakasibwa abeera akuliddemu okulonda awo wennyini ku kifo byawereza waggulu beyabagatta nebalangira.
Hasakya bamuwadde ne kaliculeeta emuyambe agatte bulungi okukakasa oba ddala byeyalangirira ne byegattibwa byebyali ebituufu.
ono bakira bwebamusomera nnamba ezimu zaabadde agamba ku biwandiiko byalina tezirabika bulungi ,ngate endala baazikutiza ate ne batasaako mukono kukakasa nti beebakutiizaawo.
Munnamateeka Abubaker Kayondo ku lwakakiiko k'ebyokulonda alagidde Hasakya annyonnyole engeri ensobi ezo gyezikolebwa ,n'agamba nti olumu ziva ku bakozi ababeera bakooye.
Omulamuzi bukirwa waakuwa ensala ye nga December 7, 2026 ng’ayita ku mutimbagano.