Amawulire

KATIKKIRO w'ekika ky'engabi ennyunga omuggya Jjajja Stephen Muyunga akubye ekirayiro by'obuweereza

KATIKKIRO w'ekika ky'engabi ennyunga omuggya Jjajja Stephen Muyunga akubye ekirayiro by'obuweereza 

Katikkiro Muyunga ng'alaga omuggo ogwamuweereddwa
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO w'ekika ky'engabi ennyunga omuggya, Jjajja Stephen Muyunga akubye ekirayiro okutuukiriza obuvunanyizibwa buno ku mukolo ogubadde ku butaka bw'ekika kino e Bwende- Kyanamukaaka e Masaka mu Buddu ku Lwokuna.

Katikkiro Muyunga ng'anyumidde mu kifundikwa eky'obuyinza

Katikkiro Muyunga ng'anyumidde mu kifundikwa eky'obuyinza

Omukulu w'ekika ky'engabi ennyunga, Omutaka Kanyana Daniel Kanyana akawungeezi akayise yakoze omukolo kweyatuuliza Katikkiro we Stephen Muyunga okumukolerako emirimu gy'ekika n'okukunga abazzukkulu mu kika kino okuwagira ebikolebwa mu kika era Muyunga yeyamye obutalekerera kika.

Katikkiro Muyunga ng'alaga abazzukulu abeetabye ku mukolo

Katikkiro Muyunga ng'alaga abazzukulu abeetabye ku mukolo

“Jjajjange Omutaka Kanyana mu maasogo ne mu maaso g’abakulu b’obusolya ab’enjawulo abali wano n’abantu abalala Nze Muyunga Stephen nga ntegeera bulungi, mu busoboozi bwange, nneeyama okubeera omuwulize gyooli, okuwereeza ekika kyange awatali kukitiririra mu ngeri yonna,” Katikkiro Muyunga bweyakubye ekirayiro

Omutaka Kannyana ng'akuba engoma

Omutaka Kannyana ng'akuba engoma

Okulaga nti wakukwasa omulimu guno amaanyi mangi, Katikkiro Muyunga yeyamye okuwaayo obukadde 100 ku nkulakulana y'ekika egenda okutandika n'okuzimba ekizimbe ku butaka wano e Bwende nga kyakumalawo obukadde 1500 nga kyakubeera ofiisi z'ekika.

Abamu ku b'ebitiibwa abeetabye ku mukolo

Abamu ku b'ebitiibwa abeetabye ku mukolo

“Akatono kembadde nako kengabanye n’ekika kyange. Kati abazzukkulu nsaba kubasaba mwenna abayunga, Abakyondwa yonna gyemuli mujje muwagire emirimu gy’ekika…Jjajja ngenda kuwaayo obukadde 100 si nkya wabula leero zibeere entandikwa mu kunoonya ssente zetwagala,” Katikkiro Muyunga bweyayogedde.

Minisita Robert Sserwanga ng'atuusa obubaka bw'obwakabaka

Minisita Robert Sserwanga ng'atuusa obubaka bw'obwakabaka

Ku lw'Obwakabaka, Minisita w'abavubuka,emizannyo n'ebitone, Ssalongo Robert Sserwanga nga mu kiseera ky'ekimu ye Katikkiro w'ekika kya Ngaali yeyabadde omugenyi omukulu nga yayogedde ku mukolo guno ng'ogugenda okusitula ekika kino n'akuutira Katikkiro Muyunga okufuba okulaba ng'akwatira ku mukulu w'ekika okukikulakulanya.

Katikkiro Muyunga ng'ali ne Nnamasole ow'okusatu okuva ku kkono wamu n'abagenyi

Katikkiro Muyunga ng'ali ne Nnamasole ow'okusatu okuva ku kkono wamu n'abagenyi

Omukubiriza w'olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba asabye abazzukkulu mu bika okubiwagira n'okukomya omuzze gw'okuyita ensonga z'ebika eza sitaani kyokka n'alaga essanyu olwa Bannaddiini abaabadde ku mukolo guno ekintu kyayogeddeko nti kiraga nti si bya sitaani.

Ye omukulu w'ekika ky'engabi ennyunga, Daniel Kiwana asabye Abaganda okukomya omuzze gw'okwetundako ettaka wabula balikolereko emirimu omuva ssente nga naye bwakoze okukuuma obutaka bw'ekika kino.

Peter Ssenkungu Katikkiro w'ekka ky'ekinyomo ng'atuusa obubaka bw'Abakatikkiro b'ebika

Peter Ssenkungu Katikkiro w'ekka ky'ekinyomo ng'atuusa obubaka bw'Abakatikkiro b'ebika

Ekika ky'engabi ennyunga kyatongozebwa Kabaka Mutebi II mu 2005 nga kyekutula ku Ngabi ey'Omutaka Nsamba gyebabeera ebbanga eddene.

Omukolo guno gwetabiddwako Namasole wa Buganda, Damalie Muganzi, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, Fr. Joseph Kyakuwa nga ye Bwannamukulu w’ekitundu ky’e Buliro eyakulembeddemu mmisa n’okusabira Katikkiro omuggya emikisa, Ababaka ba Palamenti Joan Namutaawe (Mukyala Masaka), Lubowa Ssebina Gyaviira (Nyengo-Mukungwe mu kibuga Masaka), Omuyimbi Mathias Walukagga omu ku baasanyusizza abagenyi.

Tags: