ABASUUBUZI mu Kampala bayombedde mu lukiiko nga bateesa ku ngeri gye bayinza okuweebwa emmaali yaabwe gye baggya e Kenya ne bagitambuliza mu bbaasi ezaakwatiddwa aba URA kati omwezi mulamba oguyise.
Baategeezezza nti bbaasi 20 omuli eby’amaguzi by’abasuubuzi abasuubula e Kenya zaakwatibwa kyokka bagezezzaako okuteesa ne URA bakyaziremedde, kati omwezi mulamba. Yategeezezza nti Kenya ebadde ekwatiridde abasuubuzi abannaweza ssente zigenda China kyokka ekkubo lino URA erabika yalizibye.
Hussein Kato owa KAAFO yagambye nti, bangi ku bagagga baatandikira kusuubula Kenya ng’emmaali bagitambuliza mu bbaasi n’agamba nti amaduuka mangi makalu kuba emmaali yakwatibwa URA.
Wakati mu lukiiko, kigambibwa nti John Kabanda owa FUTA yafunye essimu gye yagambye nti yabadde emukubiddwa okuva ewa akulira URA, Musinguzi ng’amutegeeza nti agenda kulagira emmaali yaabwe bagibawe.
Wabula Issa Ssekitto owa KACITA ne Godfrey Katongole owa UNATA kino baakigaanyi nti tebasobola kugendera ku bya ssimu abasuubuzi bateekwa okuva mu lukiiko nga basazeewo.
Katongole yabadde ateesezza nti amaduuka bagaggale, kyokka abalala ne bamuwakanya nti ekiseera tekinnaba era olukiiko lwawedde nga basazeewo nti bagenda kusisinkana Musinguzi ku Lwokuna bamwanjulire buli ekibaluma.