Ekitongole ekivunaanyizibwa ku ntambula y’eggaali y’omukka mu ggwanga ekya Uganda Railways Corporation kitandise ebikwekweto eby’okuggya abantu abaasenga ku ttaka eririraanye oluguudo lw’eggaali y’omukka, nga ebikwekweto bino bitandikidde e Nabbingo.

Abantu nga basengula ebyabwe okuva ku kibangirize ky'eggaali y'omukka
Bano basokedde mu zoni ya Masanda era eno abaayo balabiddwako nga babuna emiwabo wakati mu miranga nga bagamba nti ekitongole tekibawadde budde kweteekateeka nga n'abamu basazeewo okusengula ebyabwe okwewaala ekibambulira.

Abantu nga basitule obuyumba
Bano bongerako nti ensonga eno bajitwalako ne mu Kkooti era omulamuzi n'abawa ekiwandiiko ekiyimiriza okubamenya nga tabayiririddwa wabula kyababuseko olunaku olwajjo ab'ekitongole kino okubayita mu lukiiko nebabategeza nga bwebagenda okusengulwa olunaku olwa leero.
Libadde teriri busa ab'ekitongole kino ne batuka nga bayungudde ab'ebyokwerinda abawanvu n'abampi kwosa ne bawanyondo wabula bano basazeewo okweyongerayo mu bitundu bye Nabingo era nga eno bawanyondo betandise okukona amayumba ga batuze nga tebawereddwa nakyanya kujamu byabwe.

Ebimotoka biweetiiye nga biggyawo abantu
Ku nnyumba ezimenyeddwa mu kitundu kino n'sesabo teritariziddwa era nga ekimotoka kiwetiye lyona kiriyiye ttaka era nnyiniryo oluvanyuma alabiddwako nga asomba ebintu okubadde engoma kwosa ne birala byabadde akozesa mukujjanjaba abalwadde bbe.
Omwogezi w'ekitongole ekiddukanya eggaali y'omukka John Ssengendo atubuulidde kubikwekweto bino ebigenda mu maaso ebitagenda kutaliza muntu yenna nga bakumenya okutuukira ddala e Kasese.
Bwabuuziddwa kwabo abasuubizibwa okusasulwa anyonyodde nti waliwo ebitundu ebiteekeddwa okuliyirirwa naye eno kyengera nokudda e Kasese sibakuliyirirwa nga bwanyonyola.

Emu ku nnyumba ezimenyeddwa
Asabye abakyesisiggirizza mu kkubo lye gaali yomukka okwetegula nga bukyali okusobola okutaasa emaali yaabwe esobola okusengulwa nga era ku be Kyengera olw'obunji bwabwe bbo ategeezezza babawademu akadde basengule ebyabwe nga akadde Kona bakomawo.
Wetuviiridde mu kifo kino nga okumenya kugenda mu maaso omuli abakozesa enyondo, emitayimbwa nebintu ebirala ate nga nekawetiiye nayo ekola butaweera wakati mubyokwerinda ebya maanyi.