OMUVUBUKA eyeefuula nti akola mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda, n'afera abantu gumusse mu vvi n'asibwa omwaka mulamba.

Male Mu Maaso G'omulamuzi Ng'amusalira
Mu June 5, 2025 mu disitulikiti y’e Kampala ono yajingirira ebbaluwa ezigaba emirimu egy’enjawulo mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ssaako okufuna obukadde 3 n'emitwalo 80 okuva ku Melanie Kutegeka.
Ono yeefuula agenda okumufunira omulimu n’akakwakulizo k’okusooka okumuwa ssente oluvannyuma amufunire omulimu ogwo kwe kumuwa empapula ezaali enjingirire.
Male yasooka ne yeegaana emisango gyonna wabula yasazeewo okutuuka ku nteeseganya ne kkooti mwe yasabidde okukkiriza emisango gino asobole okuweebwa ekibonerezo ekisaamusaamu.
Buli musango yasaliddwa ekibonerezo kyakusibwa omwaka gumu wabula ng’ebibonerezo waakubikolera wamu.
Guno si gwe mulundi ogusoose Male okukwatibwa mu misango egy’ekikula bw’ekiti kuba yajingirirako omukono gw’omukulembeze w’eggwanga n’emirala.