Amawulire

Omusajja akwatiddwa n'emmundu e Busega n'akkiriza okwenyigira mu bubbi n'obunyazi

POLIISI ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku bantu abazze battibwa n'okukosebwa emmundu, eyazuuliddwa n'omusajja e Busega mu Kampala.

Omusajja akwatiddwa n'emmundu e Busega n'akkiriza okwenyigira mu bubbi n'obunyazi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku bantu abazze battibwa n'okukosebwa emmundu, eyazuuliddwa n'omusajja e Busega mu Kampala.

 

Emmundu eno ekika kya AK 47 ne magaziini ssatu ez'amasasi, yaggyiddwa mu Kitaka cell e Busega ward mu diviizoni y’e Rubaga mu Kampala , oluvannyuma lw'abeebyokwerinda okukwata David Atuzarirwe.

Emmundu gye baasanze ne Atuzarirwe.

Emmundu gye baasanze ne Atuzarirwe.

Kigambibwa nti ono azze yeetaba mu bunyazi n'ettemu ery’enjawulo mu Kampala, Rubirizi n'ebitundu ebirala era nga poliisi n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe nga kw'ogasse n'abakugu, bakyagenda mu maaso n'okugyekebejja okuzuula ebigikwatako.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti omusibe akkiriza nga bw'azze yeenyigira mu mubbi n'ettemu era bakyamukunya okuzuula ebisingawo.

Tags:
Busega
Bubbi
Bunyazi
Kukwatibwa
Mmundu