Abantu 10 abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo, bakwatiddwa mu Kampala ne Mukono.
Emmanuel Kyeyune bamukwatidde ku lubiri mu Kampala ne pikipiki nnamba UMA 222C W, bakutte ne Godfrey Tumusiime.
Abalala abakwatiddwa, kuliko Eriabu Kuribimaana bw'asangiddwa mu Wansaso ng'atunda pikipiki nnamba UMA 057HX egambibwa okuba enzibe. Ate era John Bosco Kaggwa ow'e Kabimbiri naye akwatiddwa nga kigambibwa nti abadde atunda pikipiki nnamba UFN 425 J.
Ye Pius Galaba owa Aldina Road e Jinja naye bamukwatidde ku Guest House emu mu Kampala ne pikipiki nnamba UFK 479 Z ebadde yabbiddwa okuva e Jinja.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti mu kitundu kya Wansaso bongeddeyo bambega okukwata ababbi abazitwalayo.