MINISTULE y’Ebyobulamu ekakasizza nti, mu ggwanga temuli kirwadde kya Ebola kyokka balangiride nga bwe bongedde okunyweza eby’okukebera ku kisaawe e Ntebe ne ku nsalo okutangira ekirwadde kino obutaddiramu ddala kuyingira mu ggwanga.
Minisita w’ebyobulamu, Dr. Chris Baryomunsi yategeezezza ku Ssande nti, bakwataganye n’abeebyobulamu e Nigeria okukola okunoonyereza okw’omuggundu ku mukyala agambibwa okubeera nti, yazuulidwaamu obulwadde bwa ebola e Nigeria naye nga yabadde ava mu Uganda.
Okusinziira ku Dr. Baryomunsi omukyala ono we yaviira mu Uganda teyalina bubonero bwonna bwa Ebola bwe yali alaze y’ensonga lwaki baasazeewo okuteeka amaanyi mu kunoonyereza kuno basobola okutegeera ekituufu. Olw’okuba Uganda ya muliraano n’amawanga agaazuulibwamu Ebola okuli Congo ne Kenya, Minista yagambye nti, nabo basazeewo bongere okunyweza okulondoola ekirwadde kino ne bakuutira abantu okubeera obulindaala.
Kati ku kisaawe e Ntebe ne ku nsalo z’eggwanga bataddewo abasawo era bongeddewo ebyuma bya tekinologiya ebyekebeggya buli ayingira eggwanga era bataddewo ne ffoomu nga kya buwaze buli ayingira eggwanga okugiteekako omukono n’ebimukwatako byonna kyanguyize okunoonya abantu bano singa wabeerawo okwekengera