Amawulire

Poliisi ekutte abakazi basatu ku by’owa sipensulo eyattiddwa

POLIISI ekutte abantu bana okuli n’abakazi basatu ku bigambibwa nti baapangisizza omuvuzi w’emmotoka ya sipeesulo ne bamwefuulira ne bamuttira e Lungujja- Kikandwa mu Lubaga.

Ampire yaziikiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI ekutte abantu bana okuli n’abakazi basatu ku bigambibwa nti baapangisizza omuvuzi w’emmotoka ya sipeesulo ne bamwefuulira ne bamuttira e Lungujja- Kikandwa mu Lubaga.
Eyattiddwa ye Gordius Ampire 43, ng’abadde avuga emmotoka ekika kya Wish UBG 064R ng’asimba ku ppaaka ya Namayiba mu Kampala nga yapangisibwa abantu bana okubatwala gye basula kyokka mu kkubo ne bafuna obutakkaanya okukakkana nga

bamukubye ekyamuviiriddeko okufa mu bulumi obwamaanyi.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigire yagambye nti, abakwate ye: James Ayom, Aguru Tong, Deng Tong ne Abudul Ram Sadang nga bonna bannansi ba South Sudan era mu kiseera kino baakumirwa ku poliisi e Nateere . Mukyala w’omugenzi Audence Tumusiime agamba nti bba babadde bamaze emyaka 15 mu bufumbo n’ezzadde lya baanabana newankubadde abadde abeera n’abaana b’omugenzi mukaaga bonna awamu abamanyiddwa. Tumusiime yagambye nti bba abadde akolera Kampala nga ye awangaalira Kannungu nga yasembye okwogera naye mu kiro kya nga October 14, 2026 ku ssaawa 3.00 ez’ekiro kyokka mu ttumbi ku ssaawa 7.00 n’afuna essimu emubikira bba.
Yayongeddeko nti, omugenzi abadde alina ennyumba gy’abadde azimba nga tennaggwa era amulese n’abaana ng’asembayo wa myaka esatu mpozzi n’abadde mu P7 alindiridde okutuula ebibuuzo n’owa S4 abikola kati. Omu ku baganda b’omugenzi John Nsekanabo, yannyonnyodde nti baamukubira naye kiro ssaawa 7.00 okumutegeeza ku mawulire ga Ampire era okumutuukako nga yasizza dda ogw’enkomerero ng’ekyaddako kwabadde kuggya mulambo mu ddwaliro kugutwala Kanungu kuziikibwa.
Ampiire yaziikiddwa nga October 16, 2026 ku kyalo Lweere mu Muluka gw’e Nyarokoso e Kambuga mu Disitulikiti y’e Kanungu

Tags: