KABINENTI eyimirizza enteekateeka z’okuwaayo ekibangirizi kya City Square eri omusuubuzi Hajji Hassan Bulwadda okukikulakulaanya.
Bino birangiriddwa minisita avunaanyizibwa ku by'amawulire n’okulungamya eggwanga Kasule Lumumba ku media center mu Kampala.
Lumumba ategeezezza nti bino byatuukiddwako mu lutuula lwa kabinenti olwatudde mu maka gw’obwa pulezidenti eggulo (Mmande) olw’abadde lukubirizibwa pulezidenti Museveni.
‘’Ensonga y’okuwaayo City Square okugikulaakulanya yayanjuddwa Pulezidenti Museveni eri baminisita okugikubaganyako ebirowoozo kyokka gye bagweridde nga basazeewo nti ekifo kino kisigale nga bwekiri’’ Lumumba bwategeezezza
Agambye nti pulezidenti Museveni yalagira minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda okukwatagana ne KCCA beetegereze okusaba kwa Hajji Bulwadda oluvannyuma bamuwe alipoota.
Ekiragiro kino kyali mu bbaluwa Pulezidenti Museveni gye yawandikira minisita Kabanda nga August 30,2026 ng’eno yaweebwako n’omumyuka we Rt. Maj.Jessica Alupo ne katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja.
‘’Kati kino kimenyewo ebyali mu bbaluwa pulezidenti gye yasooka okuwandikira minisita Kabanda ku nsonga zino’’ Lumumba bwategeezezza
City Square kifo kya kijjukizo ng’okuviira ddala 1962 era kyatekebwawo mu tteeka nga kirina ebijjukizo eby’enjawulo okuli abajaasi ba Uganda abafiira mu ssematalo wa 1945.
Yagambye nti kifo kyabyafaayo ng’okusalawo kwonna okukolebwa kulina okusibwamu ekitiibwa.
Bino webigidde nga Hajji Bulwadde yamala dda okwanjula enteekateeka y’okuzimba ekizimbe kyamyaliro 13 okuli amaduuka 2,500 ssaako woteeri ey’omulembe.
Okulaakulanya ekifo kino kubadde kutunulidde okukyusa endabika yakyo n’okuwa bannayuganda abasoba 30,000 emirimu ssaako ppaakingi ye mmotoka 1,500 kuno kwogatta WIFI ey’obwerere ne kalonda omulala.
Ettaka lino liwezaako yiika 2.9 ng’omugagga Bulwadda mukwogerako ne Bukedde agambye nti Pulezidenti Museveni muntu w’abantu era abaagala nnyo nga tayinza kuwakanya kyasazeewo ku nsonga eno.
Okuva amawulire gw’okuwa omugagga Bulwadda ekifo kino bwe gatandika okusasaanira bannayuganda wabaddewo okubagana empawa mu bakulembeze ab’enjawulo ne bannakampala ng’abamu bawagira eky’okukikulakulanya ate ng’abalala bakiwakanya