OMUBAKA ataasoma P7 era atakola bigezo bya S4 wadde ebya S6 asekera mu kikonde, oluvannyuma lw’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB okukakasa nti obuyigirize bw’alina obw’okutunga ekyalaani bumumala okubeera omubaka wa Palamenti ataliiko kubuuza!
Bino byabadde mu kkooti e Masaka mu musango gw’obutaba na buyigirize oguvunaanwa omubaka omukazi owa Sembabule, Florence Nambaziira eyawawaabirwa Mary Begumisa amulumiriza nti talina buyigirize kubeera mubaka wa Palamenti.
Omukungu okuva mu UNEB, Moses Mugizi yeeyanjudde mu kkooti y’omulamuzi Dr Christine Akello nti beebuzaako ku bannaabwe ab’ekitongole kya National Council For Higher Education (NCHE) ne babawabula nti omuntu eyakuguka okusiba enviiri nga wa Level 3 abeera kafulu mu bye yakuguka n’agamba nti bbo nga UNEB buno obuyigirize babutwala nga “Parallel Equivalent” ng’omuntu abulina, asobola okuvuganya ku kifo ky’ebyobufuzi naye nga tebumusobozesa kugenda mu matendekero aga waggulu nga yunivasite.
Yakakasizza nti UNEB tevunaanyizibwa ku bayizi ba byamikono naye singa wabaawo okukuba empawa nga bwe kiri ku Begumisa ne Nambaziira, ekitongole kyebuuza ku National Council for Higher Education era bwe kikakasa nti ettendekero omuyizi gye yamalira lyakakasibwa, kiba kitegeeza nti ebiwandiiko bituufu nga bwe kiri ku Nambaziira ettendekero gye yasomera litwalibwa aba Directorate of Industrial Training (DIT)
Nambaziira bwe yabadde yeewozaako ku buyigirize bwe, yategeezezza kooti nti yasomako ebibiina ebisooka ebya Pulayimale n’atak’ola bigezo bya P7, bwatyo mu 2022 yagenda ku ttendekero lya Mengo Vocational Youth Centre e Kayunga- Wakiso gye yafunira Satifikeeti Level 1, 2023 n’afuna Level 2 ate mu 2004 n’afuna level 3 kw’atambulira.
Yagambye nti mu kuyingira ettendekero eryo abalitwala baamuwa ebigezo eby’okugezesebwa kwe baasinziira okumuwa ekifo n’asoma okusiba enviiri, okuzinaaza n’okuwunda feesi nga mu kiseera kino ayigiriza n’okutabula ebizigo ebikola enviiri n’ebizinaaza.
Yategeezezza nti buli ‘level’ yagisomera emyezi 9 ng’asoma lwaggulo kuba musumba wa Kkanisa ya Trinity Miracle Centre.