Amawulire

Baleese obujulizi obulala mu gw’okukuba Gen. Katumba Wamala amasasi

ABATEMU abaalumba Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we baayimirira ne babuuza omuserikale bannaabwe gye baali balaze.

Baleese obujulizi obulala mu gw’okukuba Gen. Katumba Wamala amasasi
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

ABATEMU abaalumba Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we baayimirira ne babuuza omuserikale bannaabwe gye baali balaze.

 

Ofiisa wa poliisi y’oku nguudo, Hakim Nabbere yabuulidde kkooti engeri abatemu abaali babagalidde emmundu gye baamusibirako boda boda ne bamulagira abalage ekkubo bannaabwe lye baali bakutte.

Abawawaabirwa Mu Kkooti

Abawawaabirwa Mu Kkooti

Nabbere ng’amaze mu poliisi emyaka egiri mu 35 yagambye nti, nga June 1, 2021 yasindikibwa ku masang’aanzira g’e Bukoto okulung’amya entambula y’ebidduka nga bwe gwali omulimu gwe mu kiseera ekyo wansi wa poliisi ya Kira Road gye yali akolera.

 

Yagambye nti, yasooka n’ata mmotoka ezaali ziva ku ludda lwa Kisota Road olwo n’akubayo omugongo n’ata eziva e Kisaasi okudda e Bukoto, kyokka zaali ziwera nga 3:00 n’eddakiika 40 n’awulira amasasi agakuba ku Kisota Road gye yali akubye omugongo, oluvannyuma owa boda boda yajja n’amutegeeza nga bwe waliwo mmotoka y’amagye gye bakubye amasasi nti, kyokka ababaddemu bonna balabika baali bafudde.

 

Amangu ddala yadda ebbali aviire mmotoka eziva ku Kisota Road ziyitewo era waayitawo boda boda eyaliko abasajja babiri kyokka ng’eyali omusaabaze akutte emmundu ekika kya AK47 ne bavuga nga boolekera ery’e Bukoto.

 

Nga wayise akaseera katono boda boda endala yajja ng’era kuliko abasajja babiri era omusabaze naye yali akutte emmundu ekika kya AK47 ne basibira we yali ayimiridde.

 

Nabbere mujulizi wa 26 ow’oludda oluwaabi yagambye nti, abasajja bano abaali beesabise nga bataddeko ebikoofiira ku mutwe baamubuuza mu Luswayiri “Wamepita wapi” ekitegeeza nti, “bakutte wa”, kyokka teyabanyega olwo ne bakwata eridda e Kisaasi, kyokka baali batuuka ku Ssebaggala Road akalipaggano ne kabakwatamu.

 

Amangu ago, Nabbere yakwata essimu n’akubira eyali akulira poliisi ya Kira Road, ASP Kiiza n’amubuulira ekiriwo era ono yajja mangu n’abaserikale ne batuuka awaali ettemu, ne basalako ekifo okulemesa abantu okutaataaganya obujulizi.

 

Nabbere oluvannyuma yagenda ku poliisi n’akola siteetimenti era yamuweereddwa mu kkooti ayongere okutangaaza ku bye yayogedde ng’agyesigamako.

 

Gen. Katumba Wamala yakolebwako obulumbaganyi nga June 1, 2021 e Kisaasi Kisota Rd. mu Kampala abazigu ne batta muwala we Brendah Nantongo ne ddereeva we Harunah Kayondo ate Katumba n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi.

 

Abawawaabirwa kuliko; Muhammed Kagugube, Kamada Walusimbi, Silman Kisambira, Abdulaziz Ramathan Dunku, Habib Ramathan Marjan ne Muzaifa Wampa nga bawolerezebwa Geoffrey Turyamusiima ne Lawrence Kalamu ku lwa Caleb Alaka ne Evans Ocheing.

Tags:
Katumba wamala
Kkooti
Amawulire