Amawulire

Omusibe ali mu gwa Katumba Wamala alumirizza ab'amakomera okumusalako ekirevu n'okumukaka ekkanisa ng'ate Musiraamu

KKOOTI eragidde ab’amakomera e Kigo okuleeta lipooti ku musibe Muzaifa Wampa agambye nti baamusalako ekirevu n’okumukaka okugenda mu kkanisa ng’ate musajja Musiraamu.

Omusibe ali mu gwa Katumba Wamala alumirizza ab'amakomera okumusalako ekirevu n'okumukaka ekkanisa ng'ate Musiraamu
By: Margaret Zalwango, Journalist @New Vision

KKOOTI eragidde ab’amakomera e Kigo okuleeta lipooti ku musibe Muzaifa Wampa agambye nti baamusalako ekirevu n’okumukaka okugenda mu kkanisa ng’ate musajja Musiraamu.

 

Muzaifa ayise mu bannamateeka be n’abategeeza nti e Kigo baamusalako ekirevu wadde ng’abasibe bakkirizibwa okubeera nakyo.

 

Wabula ofiisa w’amakomera ASP Paul Okello abuulidde abalamuzi nti tamanyi bwe kyajja ono okusalwako ekirevu kubanga wadde abasibe babasalako enviiri, naye Abasiraamu tebasalibwako birevu byabwe.

 

Okello agambye nti agenda kuleeta lipooti ku nsonga eyo. Ono y’omu ku bawawaabirwa abawerennemba n’ogw’okukola obulumbaganyi ku Gen. Katumba Wamala nga June 1, 2021 e Kisaasi Kisota Rd. mu Kampala abazigu ne batta muwala we ne ddereeva we ate Katumba n’asimattuka n’ebisago eby’amaanyi.

Tags:
Amawulire
Makomera
Muzaifa Wampa
Kkooti
Musiraamu
Katumba Wamala