ENKYUKAKYUKA ezaakoleddwa Omulabirizi w’e Namirembe zoogezza Abakristaayo obwama ng’abamu bazisiima ate abalala baasigadde beebuuza lwaki zaakoleddwa mu ngeri eyo.

Bp. Banja Ne Walakira
Enkyukakyuka zino zaasomeddwa Omulabirizi, Rt. Rev. Moses Banja mu lukiiko lwa Synod olwatudde ku Lwokutaano nga lwetabiddwaamu abaweereza ab’enjawulo.
Ensonda zaategeezezza nti, Ven. Buwembo okuweebwa Obusumba bw’e Mbuya waasoose kubaawo okuteeseganya era ssinga tebaatuuse ku kukkiriziganya yanditeereddwa ku katebe nga bwe kiri ku yali Ssaabadinkoni w’e Ntebe, Ven. Gita Kavuma eyakyusibwa n’atwalibwa e Kazo, kyokka ate oluvannyuma ne wasindikibwayo Ven. David Mpagi nga n’okutuusa kati Ven. Gita talina kifo w’aweerereza.
Mu lukiiko lwa Synod, Bp. Banja era yasomye amannya g’Abasumba abaakyusiddwa ebifo ssaako abaawummuziddwa.
Wabula kyategeerekese ng’Abasumba abamu abaawummuziddwa tebaaweereddwa layisinsi ebakkiriza okugenda mu maaso nga baweereza mu kkanisa ssinga baba basabiddwa, ate abalala abaawummudde nga bawezezza emyaka 65, yabongedde kontulakiti ebongera okuweereza.
Ensonda zaategeezezza nti, ensonga z’ettaka zireese obuzibu bwa maanyi ku Bulabirizi bw’e Namirembe era abaweereza bangi abasangiddwa nga beetaba mu mivuyo gy’okutunda ettaka ly’ekkanisa bazze bakyusibwa n’abalala ne baggyibwako obuweereza.

Ven. Can. Buwembo
Ekkanisa nnyingi mu Bulabirizi ezirina ebizibu ku ttaka. Okugeza Obusumba bw’e Bbira, obw’e Gayaza, e Ntebe n’awalala era okumalawo enkaayana zino olukiiko lwa Synod lwakkaanyizza nti, ensonga zonna ez’ettaka ly’ekkanisa zirina kuyita mu lukiiko lwa ‘Estate Board’.
ABAKRISTAAYO ABAMU BAMUWAGIDDE
Omu ku bakulembeze b’Abakristaayo ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti, Bp. Banja asooka kwetegereza n’okwebuuza nga tannabaako ky’akola.
Yagambye nti, Banja aludde nnyo mu baweereza ng’abasinga abamanyi ate nga n’ekkanisa agimanyi. Yagambye nti, abadde mu Busumba okumala ebbanga ddene nga yakolerako mu Bulabirizi bw’e Namirembe n’e Mukono mu bitongole eby’enjawulo n’alaba ebituli ebiri mu kkanisa.
Olw’embeera eyo, yagenda okulondebwa ng’aliko by’aludde ng’alaba ng’ayagala bitereezebwe.
Baasambazze ebyogerwa nti, Banja okussa Ven. Buwembo eddaala kiva ku kuba nga baavuganya ku kifo ky’Obulabirizi ne bagamba nti, Banja yavuganya ne Rev. Abraham Muyinda gwe yawadde Obwassaabadinkoni w’e Nateete. Mu ngeri y’emu yavuganya ne Rev. Emmanuel Lutaaya gwe yawadde ekifo ky’omuwandiisi w’Obulabirizi.

Kkanisa y'e Namirembe bw'efaanana.
Embeera y’okussa wansi ekitiibwa ky’omuweereza wadde si ya bulijjo, si gwe gusoose okubaawo.
Eyali Omulabirizi eyawummula, Wilberforce Kityo Luwalira yaggya ekitiibwa kya Ssaabadinkoni ku Ven. Herbert Paul Kabanda eyali Ssaabadinkoni w’e Gayaza n’aweerezebwa mu Busumba bw’e Mutundwe.
Simon Mugerwa nga Mukristaayo mu Lutikko e Namirembe yagambye nti, enkyukakyuka ezaakoleddwa za bulijjo era Ssemateeka w’ekkanisa awa Omulabirizi obuyinza buno.
Yagambye nti, Rev. Can. Buabaweereza wembo gye yatumiddwa e Mbuya we waali Rev. Benjamin Kusasira eyali yazzibwa ku bbali nga bamunoonyerezaako.
Buwembo aweerezza nga Ssaabadinkoni e Nateete okumala emyaka 13 era by’akoze birabwako omuli n’okuzimba ekkanisa galikwoleka.