BWANAMUKULU w’ekigo ky’e Nansana, Rev Fr, Cleophas Ssentamu asomoozezza abayizi obutawaganyala olw’okuba balina omutendera gwe batuseeko, n'agamba nti balina kusigala ku mulamwa gw'obuwanguzi.
Fr. Ssentamu yasinzidde ku ssomero lya Ronah Juniro School e Nansana bweyabadde asabira ssaako okuwonga abayizi ba P7 ku ssomero lino, Katonda asobole okubayamba okukola obulungi ebigezo byabwe ebyakamalirizo.

Okusabira abayizi ba P7
Musigale ku birooto byammwe bye mulubirira.” Fr Ssentamu bweyayongeddeko.
Yayongedde n'asaba abayizi okwekwasa Katonda buli lwe banaayingira ekibuuzo ssaako obutetekako puleesa nga baddamu ebibuuzo kuba nti kin kiretedde bangi okuddamu ebibuuzo mubukyamu ate nga babadde babima

Omusomesa ng'azannya n'abaana
“Abazadde abamu bafuna okuwubisibwa ne batwala abaana baabwe mu ndagu mbu basobole okukola obulungi ebigezo, tukivumirira ekyo kuba ffe abaana abaffe tubayigiriza eddiini ssaako okwekwasa Katonda mubuli nsonga eri mubulamu bwabwe.” Mutesasira bweyayongeddeko
Yagambye nti abayizi babadde babaleetera abasomesa abakugu ssaako naabo abagolola ebibuuzo nebongera okubabangula kubutya era nti olw’okuba abayizi abasinga baatandika nabo okuva mu nnassale, balina essuubi nti bye babasomesezza bagenda kubikola bulungi ate bayitire waggulu.

Abakulira wamu n'abaana mu kusaba