Amawulire

Abakulira "eggaali" etigomya ab'e Makerere bakwattiddwa

Sabil Andama abangi gwe bamanyi nga "Amin" akwatiddwa ne banne basatu okuli; Musa Bushera amanyiddwa nga "Dog City", Vincent Ndereyo amanyiddwa nga "Vin 1 City" , ne Hassan Simon abangi gwe bamanyi nga "Swai City" bakwattiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa Poliisi y'e Wandegeya mu oluvannyuma lw'abantu abawerako okubeemulugunyako nti babadde babasuza ku tebuukye.

Sabil Andama abangi gwe bamanyi nga "Amin" akwatiddwa ne banne
By: Stuart Yiga, Journalist @New Vision

Sabil Andama abangi gwe bamanyi nga "Amin" akwatiddwa ne banne basatu okuli; Musa Bushera amanyiddwa nga "Dog City", Vincent Ndereyo amanyiddwa nga "Vin 1 City" , ne Hassan Simon abangi gwe bamanyi nga "Swai City" bakwattiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa Poliisi y'e Wandegeya mu oluvannyuma lw'abantu abawerako okubeemulugunyako nti babadde babasuza ku tebuukye.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano, Rachael Kawala ategeezezza nti bano babadde basalako abantu nga bali mu kibinja ne bababba obutabalekera kantu mu nkola emanyiddwa nga "eggaali".

Bano okusinga banyakula amasimu, obusawo bw'abakazi, ssente enkalu, amasaawa, laputoopu, n'ebintu ebirala bingi.
Abatuuze abasinga okubeekokkola ba mu Kikoni, Makerere, Kasubi, Kawaala, n'ebifo ebiriraanyewo era nga basangiddwa n'emisokoto gy'enjaga, jjaketi ezirina ebibomboola eby'efaanaanyiriza eby'amagye, engatto, n'ebissi eby'enjawulo

Tags: