AKULIRA KCCA hajati Sharifah Buzeki alabudde abakulembeze ababuzabuza abantu nebabagaana okusasulira kasasiro ky’agamba nti kimulemezza mu bantu n’atuuka n’okubaviirako okukwatibwa endwadde.
Buzeki okwogera bino kiddiridde ssentebe wa Mutungo zooni II, Adam Kibuuka okumuloopera nga bwewaliwo abakulembeze abamu ababagaana okuwaaayo sente eri amakampuni agaweebwa olukusa ekitongole kya KCCA okuyoola kasasiro nga bagamba nti KCCA erina kumuyoola ku bwereere.

Akulira KCCA Hajjat Sharifah Buzeki (wakati) nga yetabye mu bulungibwansi e Mutungo
Kyokka kino Buzeki akirungamizza n’ategeeza nga amakampuni gano agayoola kasasiro bwegaliwo mu mateeka kubanga gaweebwa olukusa okuva mu KCCA era nga abantu balina okusasulayo akasente akatonotono akaagerekebwa KCCA okusinziira ku bungi bwa kasasiro omuntu gw’alina.
Kyokka alabudde abantu abesisiggiriza mu mayumba gabwe mu kiseera kya bulunguibwansi ow’obuwaze n’ategeeza nga kino bwekisiiga ekifaananyi ekibi eri enkulakulana y’eggwanga nga kuba na kugyemera mateeka.
Buzeki yebazizza abantu abavuddeyo nebenyigira mu bulungibwansi era n’asaba abantu okwongera okukolera awamu kubanga buli omu alina obuvunanyiibwa ku kasasiro.

Emmotoka nga zikungaanya kasasiro e Mutungo
Abatuuze nga bakulembeddwamu Kansala we Mutungo, Muhammad Muwanika bemulugunyizza ku misolo egy’enjawulo omuli n’ogwamayumba nti gisukka obungi nebasaba giddemu gyetegerezebwe kubanga abantu tebalina buzibu na kusasula singa baba basasula kyebategedde.
Mmeeya we Nakawa, Ali Buken aloopedde Hajjat Buzeki ensonga y’emyala egikyali mu mbeera embi mu Mutungo n’asaba gikolebwe kibasobozese okukuuma ekitundu nga kiyonjo