Amawulire

Bannamateeka balabudde bassentebe abenyigira mu mivuyo gy'ettaka

Bannamateeka balabudde bassentebe b'Ebyalo abekobaana ne babuloka b'Ettaka okutunda ettaka ly'abatuuze mu lukujukuju okukikomya kubanga ekitali ekyo amateeka gagenda kubakolako.

Omutuuze Andrew Muwanga nga ayogera mu lukiiko
By: Huzaima Kaweesa, Journalist @New Vision

Bannamateeka balabudde bassentebe b'Ebyalo abekobaana ne babuloka b'Ettaka okutunda ettaka ly'abatuuze mu lukujukuju okukikomya kubanga ekitali ekyo amateeka gagenda kubakolako.
Okulabulwa kuno kukoleddwa bannamateeka okuva mu kibiina kya Justice Centres Uganda, Annet Nankya bw’abadde akulembeddemu banne okwetaba mu musomo ogwategekeddwa bassentebe b’ebyalo okusomesa abantu ku mateeka nga gwetabiddwamu n’abatuuze.

Akulira wofiisi y'amka n'abaana ku poliisi ya Jinja road Annet Kwagala ng ayogera eri abatuuze

Akulira wofiisi y'amka n'abaana ku poliisi ya Jinja road Annet Kwagala ng ayogera eri abatuuze


Nankya yategezezza nti bassentebe bonna abekobaana n’abafere okukaabya abatuuze ku ttaka balina okukimanya nti amateeka gyegali era gajja kubakolako.
Nankya agambye nti okusinziira ku misango gyebafuna abamu ku Bassentebe b'ebyalo bakolagana n'abafete okubba ettaka ly'abatuuze n'asaba abalina omuze guno ogweddako ekitali ekyo amateeka ga kubakolako.
Nankya yagambye nti Ssentebe w'ekyalo atunda ettaka mu ngeri etagoberera mateeka avunaanibwa nga omuntu n’awabula Bassentebe b'ebyalo okufissa obudde okusoma ku by'Amateeka era bagategeere.
Ssentebe wa FDC mu Nakawa, Moses Mugisha Okwera yasabye bannamateeka okwongera okubunyisa emisimo gino mu bakulembeze b'ebyalo kubanga bibayamba okwewala ensobi.

Munnamateeka Annet Nankya nga anyonnyola

Munnamateeka Annet Nankya nga anyonnyola


Amyuka Ssentebe wa Mtungo zooni 10, Rashid Bwiire yebazizza abategesi b’omusomo guno n’ategeeza nga bwewakyaliwo eddibu mu by’amateeka nga basaana bongere okubasomesa.
Kyokka yasabye n’abafumbo okunywerera ku bwesigwa kubanga ensangi zino obutabanguko mu maka bususse.
Tags: