Amawulire

Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka bakwatiddwa ne baggalirwa

Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka bakwatiddwa ne baggalirwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 14 abagambibwa okukama amafuta okuva mu mmotoka, bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi.

Piki ezaasangiddwa we baggyiramu amafuta

Piki ezaasangiddwa we baggyiramu amafuta

Mu kikwekweto kino era bazudde ebidomola by'amafuta 192, ebikebe 16 omuli amafuta, emipiira gye beeyambisa okukama amafuta 24 wamu ne pikipiki 2.

 

Byonna ebikwatiddwa n'emmotoka, bikuumirwa ku poliisi e Kabalagala ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Ebimu ku bidomola ebyasangiddwayo n'empiira ezaakwatiddwa

Ebimu ku bidomola ebyasangiddwayo n'empiira ezaakwatiddwa

Kino kidiridde emikutu gya Vision Group omuli ne Bukedde, okufulumya obubbi bw'amafuta e Kibuli, Lugogo ne Luzira nga kigambibwa nti bulimu abajaasi n'abaserikale b'ebitongole ebirala.

 

Ekikwekweto kiyindidde mu Agip zzooni ne Kitooro e Kibuli mu Makindye Division mu Kampala era nga kikyagenda mu maaso okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu  Kampala Luke Owoyesigyire

Tags:
Amawulire
Mafuta