Amawulire

Poliisi esuuzizza ababbi Ente mu Kiro zebabadde bapakidde mu Mmotoka ya buyonjo

Abasirikale bekitongole ekikessi mu  Poliisi ye Bulenga, ekiro bakimazeeko bagobagana n'abbabbi abateeberezebwa okubba ente okuva mu bitundu bye Mityana, nga zino babadde bazipakidde mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAU 758N.

Abasirikale n'abantu nga basika ente okuva mu mmotoka ababbi mwe baazipakidde
By: Abdul Muwonge, Journalist @New Vision

Abasirikale bekitongole ekikessi mu  Poliisi ye Bulenga, ekiro bakimazeeko bagobagana n'abbabbi abateeberezebwa okubba ente okuva mu bitundu bye Mityana, nga zino babadde bazipakidde mu mmotoka ekika kya Harrier nnamba UAU 758N.

Ente ababbi ze baapakidde mu mmotoka

Ente ababbi ze baapakidde mu mmotoka

Ababbi bano abasirkale babasaliddeko mu bitundu bye Bulenga, nga bavuze nebakwata ku Northern Bypass okutuukira ddala e Masanafu nebakwata ku lwe Ssentema, 

Bano boolekedde e Ganda kyokka emmotoka yabalemeredde neyesolossa mu luwonko, Poliisi yagenze okugituukako ng'abaagibaddemu baamazeemu  dda omusubi, nebalekamu ente bbiri ze babadde bapakiddemu.

Bano beegattiddwako abasirikale okuva ku poliisi ye Ganda nebasiitaana okuggya emmotoka mu luwonko, nga kibatwalidde ebbanga okuggya ente mu mmotoka mwezaabadde zipakiddwa.

Mu mmotoka mwasangiddwamu ejjambiya ezaakozeseddwa okutemako ente amayembe zisobole okugya mu mmotoka, abatuuze beewunyizza engeri ababbi bano gyebaapakiddemu ente zino.

Abasirikale n'abantu nga basika ente okuva mu mmotoka ababbi mwe baazipakidde

Abasirikale n'abantu nga basika ente okuva mu mmotoka ababbi mwe baazipakidde

Akulira eby'okwerinda ku kyalo Ganda Muyimbwa Christopher, alambuludde ku ngeri gyebaagudde mu buufu bw'ababbi bano, asabye abalunzi okubeera obulindaala wakati nga twolekera ennaku enkulu, kuba mu biseera bino bakyaalakimpadde beegiriisizaamu asabye n'abebyokwerinda okwongera ku bukuumi 


Abatuuze balaze okutya olw'ababbi b'ebisolo abeefudde mukoko, beebazizza Poliisi olw'omulimu gwekoze wabula nebasaba bongerwe ku bukuumi kuba tebakyebaka.


Balajaanidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Afande Abas Byakagaba,  okwongera amaanyi mu kwaza mmotoka naddala ezitambula ekiro, kuba singa mmotoka eno yazze eyazibwa ababbi bano bandikwatiddwa.

Tags:
Abasirikale
Bulenga
Ente
Babbi
Mmotoka
Muyimbwa Christopher