POLIISI ye’ Katooke ekutte omuvubuka abadde yeefuula OWA UPDF ng’akola ne poliisi n’ekigendererwa ky’okubba , bamusanze n’ebyambalo bya magye

Amannya 'abadde Ateeka Ku Yunifoomu
Moses Mutyaba omu ku batuuze yagambye nti Mitete bo mu kusooka baali bamaanyi nti wa magye kuba abadde ayambala emijoozi gy’amagye emisana ng’okukwatibwa kwe kuyambye.

Dan Ampadde Akulira Poliisi Y'e Katooke Ng'ayogerako Eri Abatuuze Wano Baabadde Ku Muzigo Gwa Mitete
Mitete nga tanakwatibwa ASP Ampadde yasooka kumuyita n’amumbuuzza ku byali bimwogerwako n’abyewakana nti tabangako muserikale wabula baatandika okumulinnya akagere ng’omu ku bakulu mu poliisi yamusanga lubona ng’ayambadde omujoozi gwa UPDF n’alagira n’akwatibwa .
Abasirikale baamusanze omuzigo mw’asula ne basangamu ebyambalo by’amagye okwabaadde emijoozi ebiri , engato , ekikooti , yunifoomu ssaako ekyambe ekigambibwa okuba nti kijingirire.
Mitete mu kwewoozaako yagambye nti waliwo omuserikale wa UPDF eyamuwa ebyambalo bino wabula ekyasinze okwewuunyisa abaserikale yabadde n’amannya abiri erya Sawani ne Lomilo. omusango guli ku ffayiro nnamba SD REF 24/29/10/2026.

Omuzigo Gwa Mitete Omwasangiddwa Ebyambalo
Ssentebe w’e Katooke Zaidi Sembaage yagambye nti obumenyi bw’amateeka bungi mu kifo ng’obuzibu buva ku mujjuzo gw’abantu.