Amawulire

Omuvubuka abadde ayambala ebyambalo by'amagye ekiro n'abba abantu ekiro akwatiddwa

Job Mitete 27 omutuuze w’e Katooke A mu muluka gw’e Wamala  mu minisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ye yakwatiddwa  poliisi y’e Katooke  eduumirwa  ASP Dan Ampadde oluvannyuma lw’abatuuze okumwemulugunyaako nga bamulumiriza okuteega abantu n’ekyambe n’abanyagulula ng’ali mu byambalo by’amagye .

Omuvubuka abadde ayambala ebyambalo by'amagye ekiro n'abba abantu ekiro akwatiddwa
By: Moses Lemisa, Journalist @New Vision

POLIISI ye’ Katooke ekutte omuvubuka abadde yeefuula OWA UPDF ng’akola ne poliisi n’ekigendererwa ky’okubba , bamusanze n’ebyambalo bya magye

Amannya 'abadde Ateeka Ku Yunifoomu

Amannya 'abadde Ateeka Ku Yunifoomu

Job Mitete 27 omutuuze w’e Katooke A mu muluka gw’e Wamala  mu minisipaali y’e Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso ye yakwatiddwa  poliisi y’e Katooke  eduumirwa  ASP Dan Ampadde oluvannyuma lw’abatuuze okumwemulugunyaako nga bamulumiriza okuteega abantu n’ekyambe n’abanyagulula ng’ali mu byambalo by’amagye .

 

Moses Mutyaba omu ku batuuze yagambye nti Mitete bo mu kusooka baali bamaanyi nti wa magye kuba abadde ayambala emijoozi gy’amagye emisana  ng’okukwatibwa kwe kuyambye.

Dan Ampadde Akulira Poliisi Y'e Katooke Ng'ayogerako Eri Abatuuze Wano Baabadde Ku Muzigo Gwa Mitete

Dan Ampadde Akulira Poliisi Y'e Katooke Ng'ayogerako Eri Abatuuze Wano Baabadde Ku Muzigo Gwa Mitete

Mitete  nga tanakwatibwa ASP Ampadde yasooka kumuyita n’amumbuuzza ku byali bimwogerwako n’abyewakana nti tabangako muserikale wabula baatandika okumulinnya akagere  ng’omu ku bakulu mu poliisi yamusanga lubona ng’ayambadde omujoozi gwa UPDF  n’alagira n’akwatibwa  .

 

Abasirikale baamusanze omuzigo mw’asula ne basangamu ebyambalo by’amagye okwabaadde emijoozi ebiri , engato , ekikooti , yunifoomu ssaako ekyambe ekigambibwa okuba nti kijingirire.

 

Mitete mu kwewoozaako yagambye nti waliwo omuserikale wa UPDF eyamuwa ebyambalo bino wabula ekyasinze okwewuunyisa  abaserikale yabadde n’amannya abiri erya Sawani ne Lomilo.  omusango guli ku ffayiro nnamba  SD REF 24/29/10/2026.

Omuzigo Gwa Mitete Omwasangiddwa Ebyambalo

Omuzigo Gwa Mitete Omwasangiddwa Ebyambalo

Ssentebe w’e Katooke Zaidi Sembaage yagambye nti obumenyi bw’amateeka bungi mu kifo ng’obuzibu buva ku mujjuzo gw’abantu.

Tags: