Amawulire

Munnayuganda agambibwa okukwatibwa n'enjaga e Nigeria ali mu kattu

Kigambibwa nti Nansubuga yabadde omu ku kibinja ky’abannayuganda abaatuuka e Nigeria nga October 29, okwetaba mu lukungana lw’enjiri ku Synagogue Church of All Nations mu kibuga Lagos.

Munnayuganda agambibwa okukwatibwa n'enjaga e Nigeria ali mu kattu
By: Ponsiano Nsimbi, Journalist @New Vision

MUNNAYUGANDA eyakwatiddwa n’ekitereke ky’enjaga e Nigeria ali mu kattu.

Faridah Nansubuga 34, ye yakwatiddwa n’ekitereke ky’enjaga ebalirwamu kkiro 1.15 gye yabadde akukulidde mu kapale ak’omunda ku Ssande ku kisaawe ky’ennyonyi ekya Murtala Muhammed .

Faridah n'enjaga gye yabadde akukulidde mu kapale.

Faridah n'enjaga gye yabadde akukulidde mu kapale.

Kigambibwa nti Nansubuga yabadde omu ku kibinja ky’abannayuganda abaatuuka e Nigeria nga October 29, okwetaba mu lukungana lw’enjiri ku Synagogue Church of All Nations mu kibuga Lagos.

 

Kigambibwa nti banne baalinnya ne bakomawo e Uganda kyokka ye n’asigala emabega okusobola okumaliriza miisoni eyali emuweereddwa.

Farid Nansubuga nga bimusobedde

Farid Nansubuga nga bimusobedde

Nansubuga yategeezezza bambega b’e Nigeria nti waliwo Munnayuganda amanyiddwa nga Joy eyamukwanaganya n’Omunigeria eyamuwa ekitereke ekyamukwasizza okubaako wooteri gy’akitwalako ng’amusuubizza ddoola 1,000 mu za Uganda, obukadde nga 4

 

Tags:
Njaga
Nigeria
Kukwatibwa
a
Faridah