Abantu 66 okuli abakazi 10 n'abasajja 56, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa e Luweero.
Kiyindidde ku kyalo Kalibongo, Vvumba, Kibanyi mu Busiika T/C e Luweero, era nga kikoleddwa poliisi, amagye ne ISO.

Abamu kubakwatiddwa
Kidiridde obumenyi bw'amateeka omuli okubba, okumenya amayumba n'okuteega abantu ne banyaga ssente, essimu ne kalonda omulala nga basinziira mu bifo ebikyamu.
Basangiddwa n'enjaga, ebyuma ebimenya n'ebigambibwa okuba ebibbe era okubasunsulamu, kugenda mu maaso.