Amawulire

Abantu 66 okuli abakazi 10 n'abasajja 56, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa  e Luweero.

Abantu 66 okuli abakazi 10 n'abasajja 56, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa  e Luweero. 

Abamu kubakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 66 okuli abakazi 10 n'abasajja 56, be bayooleddwa mu kikwekweto ekikoleddwa  e Luweero. 

Kiyindidde ku kyalo Kalibongo, Vvumba, Kibanyi mu Busiika T/C e Luweero, era nga kikoleddwa poliisi, amagye ne ISO. 

Abamu kubakwatiddwa

Abamu kubakwatiddwa

Kidiridde obumenyi bw'amateeka omuli okubba, okumenya amayumba n'okuteega abantu ne banyaga ssente, essimu ne kalonda omulala nga basinziira mu bifo ebikyamu.

Basangiddwa n'enjaga, ebyuma ebimenya n'ebigambibwa okuba ebibbe era okubasunsulamu, kugenda mu maaso. 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti ebikwekweto bigenda mu maaso. 

Tags: