Amawulire

Abaawaddeyo ettaka lya Lubigi CAO we wakiso alabudde okubafulumya office

Abaawaddeyo ettaka lya Lubigi CAO we wakiso alabudde okubafulumya office 

Cao wa Wakiso Jude Mark Bukenya
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

AKULIRA abakozi ku disitulikiti ye Wakiso, Jude Bukenya alabudde okuggya abakozi be mu ofiisi abetumikiriza ne bawaayo olutobazi lwa Lubigi eri bamusigansimbi bateekemu amakolero.

CAO Bukenya yagambye nti ofiisi ye nga CAO terina wadde ebbaluwa oba ebyasalibwawo ku kuwaayo Lubigi eri musigansimbi, era nti abakozi bonna abeetabye mu kuwaayo olutobazi, bajja kunnyonnyola ku byabwe.

Olutobazi lwa Lubigi bwelufanana

Olutobazi lwa Lubigi bwelufanana

“Nga disitulikiti ye Wakiso, NEMA ne Gavumenti twakola ekisoboka okutereeza Lubigi nga tujjamu abesenzaamu, era buli mukozi ku disitulikiti eyetaba mukino ngenda kumujjggyamu ofiisi ate annyonnyole ani yamuwa olukusa okuwaayo olutobazi.” Bukenya bweyayongeddeko.

Bukenya okuvaayo okukola kino, kiddiridde akulira okuteekerateekera disitulikiti ye Wakiso, Ruth Nakatudde okukuba olukiiko olw’ekyama ku lutobazi lwa Lubigi n’ategeeza nga disitulikiti bweyawaddeyo olutobazi eri bamusigansimbi batekemu amakolero.

Nakatudde mu lukiiko yategeeza nti kanso y’eggombolola ya Wakiso Mumyuka ssaako kanso ya disitulikiti bonna baayisa ekiteeso ky’okuwaayo Lubigi era nti bateekateeka kutekawo makolero mu Lubigi wonna webaagoba abantu

Bukenya yannyonnyodde nti n’olukiiko olwaakuba talumanyiiko nategeeza nti agenda kuyita abakozi bonna abakola mukitongole ky’ebyentobazi bannyonnyole eyabawa ekiragiro ku by’okuwaayo Lubigi.

Meeya wa Munisipaali ye Nansana Johnbosco Sserunkuuma ng'annyonnyola

Meeya wa Munisipaali ye Nansana Johnbosco Sserunkuuma ng'annyonnyola

Ye Esau Mpoza akulira eby’entobazi ku disitulikiti e Wakiso, yabuziddwa ku by’enteekateeka z’okuwa bamusigansimbi Lubigi, nategeeza Bukedde nga bwatalina kyabimanyiiko.

Mukiseera kino akulira okutekeratekera disitulikiti ye Wakiso, Ruth Nakatudde tali mu ggwanga olw’embeera gye bamutaddeko okunnyonnyola kubiki ebigenda mumaaso ku lutobazi lwa Lubigi.

Bakkansala e wakiso bagenda mu kkooti;

Bakansala abatuula ku lukiiko lwa disitulikiti ye Wakiso baategezezza nti bagenda kutwala Nakatudde mu kkooti abannyonnyole wa gye baayisiza ekiteeso nti abawe ne “minutes” ezigaba Lubigi.

Kkansala akikirira Kasangati ku disitulikiti e Wakiso, Fred Kiwalakiku yategezezza nti bagenda kutuukirira sipiika wa disitulikiti ayite kanso ey’amangu bayise ekiteeso ekitwala Nakatudde mu kkooti.

Omubaka wa Wakiso Ethel Naluyima ng'alambla Lubigi

Omubaka wa Wakiso Ethel Naluyima ng'alambla Lubigi

Kiwalakiku yagambye nti kyewunyisa okuba ng’abakozi ba Gavumenti bayisa mu kanso olugaayu nebatuuka n’okugijwetekako ebintu kyokka nga n’akulira abakozi ku disitulikiti tabimanyiiko.

Yategezezza nti kyewunyisa okuba nga bakkansala bali mu kawefube ataasa obutonde bwensi mu disitulikiti ate ng’abakozi ba Gavumenti bakolerera kusanyawo ntobazi, nagamba nti bagenda kulwana okulaba nga ebikolwa bino tebyeyongera.

Bakkansala abalala okuli Fred Kakooza okuva e Bweyogerere ne Ronald Kwizera okuva e Nansana baakalambidde nti tebagenda kukkiriza Lubigi kusanyizibwawo kuba lwe lutobazi olukunganya amazzi okuva e Makerere newalala.

Ye meeya wa munisipaali ye Nansana, Johnbosco Sserunkuuma yategezzza nti eky’okuwaayo Lubigi takirinaako buzibu nti kyokka Gavumenti esanye esooke eriyirire abaasengulwa mu Lubigi kuba abamu baalinamu ebyapa.

“Tetulina buzibu nakukulakulanya Lubigi kuba ensi ezaakula ezisinga zizimbye muntobazi, kyokka disitulikiti erina okusooka okufuna olukusa lwa NEMA nengeri gyebagenda okukulakulanyamu ssaako okuliyirira abantu abaagoba mu lutobazi.” Sserunkuuma bweyayongeddeko.

Kkansala Kiku ng'annyonnyola. Amuddiridde ye Kakooza ne Kwizera ku kkono

Kkansala Kiku ng'annyonnyola. Amuddiridde ye Kakooza ne Kwizera ku kkono

NEMA ennyonnyodde;

Akulira ekitongole kya NEMA, Dr. Barirega Akankwasa yategezezza nti NEMA tennafuna kiwandiiko kyonna kisaba Lubigi kutekamu makolero, kuba nti NEMA yakola ky’amaanyi okujjamu abesenzamu nga teyinza ate kuwagira kutekamu makolero.

Akankwasa yategezezza nti tebagenda kukkiriza oba okuteeka omukono kukiwandiiko kyonna ekigaba Lubigi kuba omulamwa gwabwe gwa kukuuma buttoned bwensi wabula sikusanyawo.

“Enkuba esinga obungi eva muntobazi nga zino, nga mukino tetuyinza kukkiriza kuzisanyawo, twasalawo tugobemu abantu okumalawo amataba amangi, air pollution ssaao nebirara ebiyinza okuva mukusanyawo olutobazi.” Akankwasa bweyayongeddeko.

Tags: