POLIISI e Kakiri, eriko ente ssatu z’esuuzizza ababbi nga bazitambuliza mu mmotoka ekika kya CRV.
Kitegeezeddwa nti poliisi yasobodde okubataayiza n'ezibasuuza nga baakaziggya mu mmotoka okuzitwala ku nsiko bazikwekwe, ne badduka era poliisi eri mu kubayigga ng'amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Owoyesigyire, bwe yannyonnyodde.
Ate omusajja omu Kevin Ssemanda, atwaliddwa mu ddwaaliro e Rubaga ng'afunye ebisago eby’amaanyi, omuliro bwe gukutte sitoowa y'emmere y'enkoko mu Nanfuka zzooni e Nateete leero nga bukya.
Owoyesigyire, agambye nti gwokezza sitoowa ya Bruno Kyanja omubadde ensawo z'emmere y'enkoko 300 ne zisaanawo.