ABATUUZE b’e Masajja baakeeredde mu ntiisa oluvannyuma lw’okugwa ku mulambo gwa munnaabwe nga yattiddwa.
Kyaddiridde baliraanwa okulaba oluggi lwe nga luggule kyokka nga tebamulaba, kwe kutegeeza landiroodi eyayise poliisi y’e Kibiri eyakulembeddwa agikulira, Hellen Mutono ne bakebera mu nnyumba gye baagwiridde ku mulambo gwe.
Katumba abadde makanika mu ggalagi mu Wansanso zooni e Kibuye nga kigambibwa yabadde yaakagula essimu ekika kya iPhone era mu nnyumba essimu tebaagisanzeemu ssaako ebintu ebirala. Poliisi omulambo yagututte mu ggwanika e Mulago.